Akawungeezi ka leero, omumyuka wa Ssekiboobo asooka, Moses Ssenyonjo atuuse mu maka g’omugenzi e Mayirikiti okusaasira ku b’oluganda, abako n’ab’emikwano ssaako abataka.
Effujjo mu Kulonda Kw’abavubuka e Mukono-Aba NRM Bapangisizza Bakifeesi ne Bakuba Aba NUP
Abatuuze mu ggombolola ya Kabaka ey’e Ngogwe mu ssaza ly’e Kyaggwe mu disitulikiti ey’e Buikwe bali mu kiyongobero olw’amawulire g’okuviibwako eyali omwami wa Kabaka ow’eggombolola eno, Stephen Nsubuga Mukasa.
Nsubuga, ng’abadde mutuuze ku kyalo Mayirikiti mu Nkokonjeru TC, kigambibwa nti abadde mugonvu ng’alina ebirwadde eby’obukadde ebibadde bimubala embiriizi, kyokka ng’ono abaakedde okugenda ku masomero baamulese mulamu ng’amawulire g’okufa kwe gabasanze eyo ng’ekituufu ekimusse na buli kati bakyakitankana.
Akawungeezi ka leero, omumyuka wa Ssekiboobo asooka, Moses Ssenyonjo atuuse mu maka g’omugenzi e Mayirikiti okusaasira ku b’oluganda, abako n’ab’emikwano ssaako abataka.
Ssenyonjo bano abasaasidde nnyo olw’okuviibwako Nsubuga, eyali omuweereza w’Obwakabaka omwesigwa era eyayagala ennyo Kabaka we.
Nsubuga waakuziikibwa olunaku lw’enkya e Masaaba ku disitulikiti eno ey’e Buikwe ku ssaawa munaana.
Busoga Christians Reject Clergy Fronted for Bishop’s Seat, Petition Archbishop