Nga Eklezia mu Uganda ekyali mu kusagambiza olw’essanyu ly’okwaniriza Paapa Leo XIV, ate Abakirisitu baguddemu encukwe bwe bafunye amawulire g’okufa kwa Msgr. Expedito Magembe owa Mt. Sion e Bukalango.
Amawulire g’okufa kwa Msgr. Magembe gafulumiziddwa Cansala wa Kampala Archdiocese, Fr. Pius Male Ssentumbwe enkya ya leero.
“Ku lwa Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ery’e Kampala, Paul Ssemwogerere, n’ennaku nnyingi, mbabikira Msgr. Expedito Magembe owa Mt. Sion Bukalango afudde nga May 9, 2025. Enteekateeka z’okuziika zijja kubategeezebwa mu kiseera ekituufu. Tubasaba okumuweereza essaala omwoyo gwe Katonda asobole okugwaniriza n’essanyu,” Fr. Ssentumbwe bw’ategeezezza.