Onyango agambye nti ettemu lino lyabadde ku kyalo Namuyenje mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono ku Lwokusatu olw’eggulo.
Police Arrest Killer of Mukono Businesswoman Over sh18m Loan
Poliisi e Mukono ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okukkakkana ku musuubuzi eyamuwola ensimbi obukadde 18 n’amufumita ekiso n’amutta.
Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano ategeezezza nti omugenzi ye Hamidha Mutesi Nalule (35) sso ng’ate avunaanibwa ogw’obutemu ye Elvis Katabazi.
Onyango agambye nti ettemu lino lyabadde ku kyalo Namuyenje mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono ku Lwokusatu olw’eggulo.
Grief as Police Exhume Body of Murdered Woman, Buried in Education Officers’ Compound
“Katabazi yasinga ennyumba ye eri Mutesi bwe yamuwola ensimbi obukadde 18 kyokka ne bafuna obutakkaanya mu kusasula. Bano baasazeewo bagende ewa ssentebe w’ekyalo balabe bwe batuuka ku kukkaanya, kyokka mu kugenda, Katabazi ng’ali mu mmotoka ya Mutesi, Toyota Fielder nnamba UBR 759V yamufumise ekiso mu bulago n’amukutula omumiro n’amutta,” Onyango bw’ategeezezza.
Onyango agambye nti poliisi yasitukiddemu n’egenda etaasa Katabazi ku batuuze abaabadde beesomye nga baagala okumumiza omusu nga mu kiseera kino akuumirwa ku poliisi y’e Mukono nga bw’alindiridde okuvunaanibwa ogw’obutemu.
“Twafunye akambe akaakozeseddwa okutta Mutesi okuva mu kifo ewaabadde ettemu, n’obujulizi obulala,” bw’agambye.
Omulambo gwa Mutesi gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okwekebejjebwa ng’okunoonyereza ku musango bwe kugenda mu maaso.
Bbo ab’oluganda n’emikwano gy’omugenzi gikungaanye mu bungi ku kyalo Nkoko ekisangibwa mu kibuga ky’e Lugazi okwetaba mu kumuziika olw’eggulo lwa leero.
Court Denies Bail to Niwamanya, Accused of Forging Janet Museveni’s Signature