Kkooti y’amagye e Makindye yayongezzaayo okusaba kw’okweyimirirwa okwateekebwayo bannakibiina kya NUP Agaba Anthony amanyiddwa ennyo nga Bobi Young n’e Achileo Kivumbi ng’ono ye yali omukuumi w’akulira ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine.
Bobi Young ne Achileo okusaba kwabwe kwayongezeddwayo okutuusa nga October 21, 2024. Bano bavunaanibwa emisango egyekuusa ku kusangibwa n’ebintu by’amagye.
Ng’asimbiddwa mu kaguli ka kkooti y’amagye, oludda oluwaabi lwategeezezza nti Achileo ssinga kkooti emukkiriza okweyimirirwa waakutataaganya obujulizi obuli mu musango guno.
Eyakuliddemu oludda oluwaabi, Col. Raphael Mugisha yategeezezza kkooti nti okunoonyereza kwabwe kwaggwa ng’okuwulira omusango guno kuyinza okugenda mu maaso.
Ssemakadde Emirimu Agitandise na Maanyi-Agobye Ssaabawolereza wa Gavumenti ku Lukiiko
Looya wa Kivumbi, Shamim Malende bino yabijunguludde n’agamba nti omuntu we alina buli kyetaagisa okusobola okweyimirirwa.
Kkooti era yawulidde n’okusaba kw’okweyimirirwa kwa Bobi Young, wabula nga kw’ono, oludda oluwaabi lwasabye luweebwe obudde okwetegereza ebikwata ku bagenda okumweyimirira.
“Twetaaga obudde okwetegereza ebikwata ku kusaba kwe n’abo abayimiriddewo okumweyimirira,” Mugisha bwe yategeezezza.
Bp. Kagodo Hails Directors of Mukono Parents High School as it Celebrates 25 Years of Existence