Kyagulanyi Alambudde ku Mubaka Ssegirinya-Embeera ye Ewa Essuubi

0 minutes, 51 seconds Read

Ssenkaggale w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu a.k.a Bobi Wine alambudde ku Mubaka wa palamenti owa Kawempe North Muhammad Ssegirinya n’asanga ng’embeera y’obulamu bwe ewa ku ssuubi.

Ssegirinya aludde ng’ebirwadde bimugoya n’abamu ku booluganda lwe, mikwano gye egy’okulusegere n’abawaguzibe ne batuuka okuggwamu essuubi. Wabula Kyagulanyi w’amutuukiddeko, ng’embeera ye ezzaamu amaanyi.

Ssegirinya yasiibulwa okuva mu ddwaliro e Nsambya gye yali aggyanjabirwa okumala akaseera nga mu kiseera kino obunjanjabi abugunira waka.

Kigambibwa nti Ssegirinya obulwadde obumubala embiriizi yabuggya mu kkomera gye yasibibwa ne mubaka munne Allan Ssewanyana okumala ebbanga lya myaka ng’ebiri ku misango egy’ekuusa ku ttemu ly’ebijambiya eryaliwo mu bitundu by’e Masaka ng’okulonda owa 2021 kye kuggye kuggwe ng’abantu abawerako battibwa abatemu ab’ebijambiya n’abalala ne babuukawo n’ebisago.

Ssegirinya nga kyaggye ayimbule mu kkomera obulwadde bwamunyiikirira ne batuuka n’okumutwalako ebweru w’eggwanga mu Netherlands n’afuna obunjanjabi obw’ekikugu wadde ng’ate obulwadde bwe bumu bazzeemu ne bumunyiikirira ne baagala n’okumuzzaayo ebweru naye kkooti n’esooka egaanira paasipooti ye nga baagenze okugimuddiza ng’agonze nnyo abasawo ne bamugaana okutambulira mu nnyonyi nga kiyinza okumuviiramu obulabe.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!