Minisita Babalanda Awadde Abakyala b’omukatale e Mukono Ensimbi

2 minutes, 22 seconds Read

| MUKONO | KYAGGWE TV | Ensimbi obukadde bubiri ze zaakwasiddwa abakulembeze b’abakyala b’akatale ka Kame Valley e Mukono okusobola okubayambako okwekulaakulanya.

Ng’abakwasa ensimbi zino, RDC w’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka yategeezezza nti zino zaabaweereddwa Minisita atwala ensonga z’amaka g’obwa pulezidenti, Milly Babirye Babalanda nga yazibasuubiza gye buvuddeko bwe baakola omukolo ne bamuyita ng’omugenyi omukulu.

RDC Ndisaba yategeezezza nti Minisita Babalanda yagenderedde kwongera maanyi mu bakyala bano okuyita mu nteekateeka yaabwe ey’okutereka n’okwewola nga bwe bongera mu bbizinensi zaabwe.

Babalanda ng’ayita mu bubaka bwe yatisse Ndisaba, yakalaatidde abakyala bano okufuba okwongera amaanyi mu kukola nga batereka n’okwewola ssaako okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti ez’okwekulaakulanya omuli PDM oba emyooga.

Wabula bano baaloopedde Ndisaba nti abakola ku nteekateeka za PDM baagaana okubawa ensimbi nga bagamba nti akatale ssaawa yonna kagenda kumenyebwawo nga kaddamu okuzimbibwa nga tebalina gye bagenda kubanoonya kusasula.

Betty Nakiboneka omu ku basuubuzi yagambye nti baakola bulungi ekibiina ne bagoba ku mpapula ng’emitendera bwe gyateekebwawo wabula ne bagaana okubawa ensimbi nga beekwasa eky’okuba nti akatale kagenda kumenyebwa kaddemu kazimbibwe, nga kino kigenda kutwala ebbanga nga tebaliiwo.

RDC Ndisaba n’abamu ku bakyala mu ssanyu.

Abasuubuzi era beekubidde enduulu eri RDC Ndisaba nga bagamba nti abasirikale abalwanyisa envuba embi basusse okubaliisa akakanja nga bakola ennumba ez’amaanyi mu katale ne babakolako effujjo nga bagamba nti batunda obwennyanja obuto nga ne gye buvuddeko waliwo omu ku bannaabwe gwe bagamba nti abasirikale bano baamukuba amasasi agaamutta awo nga ku Banka of Africa ku kkubo erigenda mu katale.

Ng’ayanukula, Ndisaba yategeezezza nti kituufu abasirikale abalwanyisa envuba embi enkola yaabwe ey’emirimu tebadde nnungi nga ne gye buvuddeko abakulira abasirikale abo mu disitulikiti y’e Mukono abakolera mu bitundu by’e Katosi ne mu bizinga by’e Kkoome baakyusiddwa oluvannyuma lw’okufa kw’abavubi babiri mu kikwekweto ky’envuba embi.

Abamu ku bakyala abakolera mu katale nga bawuliriza Ndisaba ng’ayogera gye bali.

Wabula yasabye abasuubuzi bennyini okwekolamu omulimu balwanyise bannaabwe abakyenyigira mu nvuba embi nga batunda obwennyanja obuto obumenya amateeka.

“Njagala muteekewo amateeka agafuga akatale, ng’oyo yenna ayingiza obwennyanja obuto mu katale ssinga aloopebwa ne bakola okunoonyereza ne basanga nga kituufu agobebwa mu katale. Olwo abasirikale temujja na kuddamu kubalabako,” RDC bwe yabawabudde.

Nelfred Nkambwe atwala enteekateeka za PDM n’emyooga mu munisipaali y’e Mukono.

Ku ky’ensimbi z’emyooga ne PDM, Ndisaba yayise akulira enteekateeka zino mu munisipaali y’e Mukono, Nelfred Nkambwe okuvaayo annyonnyole.

Nkambwe yategeezezza nti si kituufu nti abakyala oba bammemba bonna abava mu katale tebafunanga ku nsimbi n’agamba nti waliwo ebibiina ebizze bifuna ku nsimbi za PDM nga ne bammemba abamu ku bbo mu lukiiko luno baabaddemu wadde nga teyabaatuukirizza mannya.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!