BYA WILBERFORCE KAWERE
Minisita wa Ssaabasajja Kabaka avunanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu, okulambula kw’Omutanda n’abantu abali ebweru wa Buganda, Joseph Kawuki alabudde abaweereza mu Bwakabaka n’okusingira ddala abaami obutageza kuva ku mulamwa nga bakola emirimu mu ngeri eya gadibengalye n’okukola ebyo ebibaweebula ng’okutunda ettaka ly’Obwakabaka.
Okulabula kuno, Minisita Kawuki abadde Kyaggwe mu Katende Gardens e Kalagi mu ggombolola ya Mutuba III Kyampisi ku mukolo omumyuka wa Ssekiboobo ow’okubiri Fred Katende Kangavve gw’ategese okwebaza Katonda olwa Nnyinimu okusiima n’amulonda okubeera Omumyuka wa Ssekiboobo wamu n’ebirala bingi Katonda byamutuusizzaako mu bulamu.
Double Standards as Law Breaking Priest is Dismissed, Re-Assigned
Minisita Kawuki asabye abaweereza nti beewale okukola emirimu mu ngeri eya kanagweremu eyo.
Minisita era araze obwenyamivu olw’abazadde ababongootedde mu nsonga y’okuteekateeka abaana ab’obulenzi.
Minisita Kawuki asabye Abaganda okubeera obulindaala beerinde Bannabyabufuzi abazzenga bavvoola Kabaka bwe baggya okubasaba obululu baleme kubalonda.
Mu ngeri y’emu Kawuki era ayongedde okukunga abantu ba Ssaabasajja okusitukiramu balwanirire Obwakabaka bwabwe nga bakoma kw’abo ababusekeeterera n’okutyoboola Nnamulondo.
Mu kusooka, Omulabirizi w’e Mukono eyawummula Bp. James William Ssebaggala yakulembeddemu okusaba okwagguddewo omukolo guno, n’agamba nti ekiviiriddeko ekizibu ky’ebbula ly’emirimu mu bavubuka mu ggwanga be bavubuka bennyini okunyooma emirimu, okubulwa obwesigwa n’okukola emirimu mu ngeri eyagadibengalye ne kannaggweramu eyo.
Omumyuka wa Ssekiboobo asooka nga ye mwami wa Kabaka akulembera e Ssaza Kyaggwe Moses Kiyimba Ssenyonjo yagambye nti balina bingi bye batuuseko ng’obukulembeze bw’e ssaza lino Kyaggwe obukyali obuggya gamba ng’okutondawo obumu mu Bannakyaggwe.