Omulangira Kasimu Nakibinge ng'ayogera.

Abasiraamu, Abalangira N’Abambejja Bajjukidde Emirimu Gy’Omulangira Nuhu Mbogo

1 minute, 48 seconds Read

Abalangira n’Abambejja awamu n’Abasiramu baakunganye mu bungi mu kujjukira abantu abakoleredde ennyo Obusiramu okwali n’Omulangira Nuhu Mbogo ng’ono ye yawaayo n’ettaka okwazimbwa omuzikiti ogumanyidwa ogwa Mbogo e Kawempe.

Bano baasoose na kulomba dduwa obwedda ekulemberwa ba maseeka era nga mwetabiddwamu abantu bangi okwabadde bannabyabufuzi, Abalangira, Abambejja, Bassaava ne Bannaava era nga Sheikh Abed Tamusuza ye ysomye Khutubah.

Sheikh Abed Tamusuza yalaze obwennyamivu eri Bannayuganda ensangi zino abasusse okubeera ne ffitina, enkwe, obutayagaliza nga kw’otadde ettemu eryeyongedde buli lukya.

Tamusuza alabudde abakyalemedde ku mize egyo nti ekiseera kyabwe eky’okuvannyuma kyakubeera kya kukaaba, ennaku n’okubonaabona.

Sheikh Ntanda Muzzanganda nga y’amyuka Supreme Mufti wa Uganda yawadde obubaka bwokuggalawo omwaka ne yenyamira ku bantu be yagambye abavudde ku mulamwa ogwabatondesa Katonda nga kati beenoonyeza byabwe na kwekkusa mu mbuto zaabwe.

Muzzanganda era yennyamidde ku ttima erifumbekedde mu bakyala ensangi zino nga kati bangi baafuuka batemu n’abawa amagezi okwekuba mu mitima nga omwaka tegunagwako bakyuke.

Yalabudde n’abakulembeze abakambuwadde ekisusse n’abakyala abeekobaana n’abaana ne batta babbaabwe n’abasaba okukikomya kuba bye bakola bamala biseera.

“Oyo atta munne aba amala biseera kuba ensi eno teri agenda kugibeerako lubeerera. Bangi be twali tumanyi ab’amaanyi ennyo, abagagga ffugge naye nga nabo baafa,” bwe yategeezezza.

Sheikh Muzzanganda yennyamidde olw’omukazi eyalabikidde mu katambi ng’atulugunya omwana era kino yakitadde ku bakyala abaweddemu ensa nga kati obutemu bwe baliko bwawaggulu nnyo.

Oluvanyuma Omulangira Kasimu Nakibinge yawadde obubaka bwe mwe yategeerezza ng’abantu abatunda embuga (ettaka okutudde amasiro) bwe bakola ekikyamu kubanga bannanyini bazirekawo era nabo bazisangawo era n’abategeeza nga bwe batagenda ku gaggawala kutuuka kugenda na bugagga obwo obuyayaanya okutuuka okwekola ebitagasa.

Omulangira Nakibinge yayongedde okutegeza nga Nnaalinya bwe yali anafuye kwe kumuteekako Omulangira Muhammed Kamaanya naye n’atandika okweyisa obubi era n’alangirira nga bwamujjeeko era n’amugoberawo namutegeeza nga bw’atalina buyinza bwona ku mbuga eno.

Kamaanya yamusikizizza Omulangira Wampamba Sulaiman era n’amwanjula eri Abambejja n’Abalangira ssaako Abasiraamu abaabadde bakungaanye mu bungi. Yategeezezza nga n’obukulembeze bw’omuzikiti gw’ewa Mbogo nabwo bwe yabukyusa era n’abategeza nga bw’agenda okubawa abakulembeze abalala.

Ensonga Za Rev. Merewooma Zikyalanda: UCU Esazizzaamu Dipulooma Gye Yasomerayo!

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!