
Abakkiriza mu kkanisa y’abalokole eya Mt. Lebanon e Mukono bafunye ku buweerero okuva ku bunkenke bwe babaddeko okumala emyaka egisoba mu kkumi nga beeraliikirira ekkanisa yaabwe okumenyebwa olw’emisango gy’ettaka gye babadde bawerennemba nagyo wakati waabwe n’ab’ekkanisa ya United Methodist Church of Uganda.
Bano bazze basindana mu misango egy’enjawulo ng’okusembyeyo ogwawaabibwa mu mwaka gwa 2023 ng’ekkanisa ya Mt. Lebanon ewawaabirwa n’abantu abalala musanvu okuli; Lawrence Matovu, Difas Kabugo, Robert Ssenfuma, Omuwandiisi w’ebyapa (Registrar of Titles), Rebecca Kibulire Mukasa wamu ne Elizabeth Nabeta nga gubadde mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono, Jacqueline Mwondha. Omusango guno gwasaliddwa ku Lwokusatu nga February 26, 2025.
Okusinziira ku bannamateeka b’abawawaabirwa aba Mugerwa and Partners Advocates ne Musangala and Co Advocates and Solicitors okuli; Asuman Matovu ne Arafat Majwega, omusango aba United Methodist Church gwe baaloopa abantu baabwe baagukubyemu ebituli mu maaso g’omulamuzi ne bamulaga nga ddala temuli nsa era naye n’asinziira okwo n’agugoba.
Matovu yategeezezza nti balina essayu okulaba ng’okutya n’obunkenke obubaddewo okumala emyaka buweddewo nga kati ekkanisa yaddembe okukozesa ettaka nga bw’eyagala.

“Omulamuzi omusango yagugobye n’awa n’ensonga abawawaabirwa ze bataatuukiriza. Okuleka nga bajulidde mu kkooti esingako ate nga nakyo tetukitidde kuba weetuli, tewali kikyayinza kuziyiza kkanisa kukozesa ttaka na bintu byayo. Ate era omulamuzi yalagidde oludda oluwaabi okuliyirira oluwawaabirwa ensimbi zonna ezisaasaanyiziddwa mu musango guno,” bwe yannyonnyodde.
Abamu ku bakkiriza mu kkanisa eno baategeezezza nti babaddenga mu kutya naddala olw’ensala eyaweebwa gye buvuddeko ng’omulamuzi alagira ekkanisa eno emenyebweyo mu nnaku musanvu ettaka liweebwe aba United Methodist Church wadde ng’ate aba Lebanon baajulira era omusango ne bagusinga.
Mukono CAO, Headteachers In Trouble For Abuse Of Office, Financial Misconduct

Oluvannyuma mu 2023 aba United Methodist baddamu okuwaaba buto omusango nga guno omulamuzi Mwondha gw’agobye olw’obutabaamu nsa n’alagira aba United Methodist Church okuliyirira be baawawaabira.
Omusumba Lwandasa wakati mu ssanyu yatubuulidde gyenvudde mu nsonga zino n’agamba nti eky’akabi kwe kuba nti ekkanisa bwe yali ekyali mu biwempe, abaagiwaawaabira nga baagala emenyebweyo baali tebavaayo nga baamala kulaba ng’ekulaakulanye ne balyoka batanika okulwana.
Wabula yagulumizza Katonda olw’okweyolesa ng’ayita mu mulamuzi Mwondha eyagobye omusango guno.
Pr. Lwandasa nga yeegattiddwako abamu mu bagoberezi bazinye amazina, okukuba emizira nga beekulisa obunkenke ensala y’omusango guno bw’ebaggyeko.