Essaza lya Klezia ery’e Lugazi lye likulembeddemu omulimu gw’okulamaga e Namugongo omwaka guno ng’omusumba atwala essaza lino, Christopher Kakooza y’agenda okukulemberamu mmisa ey’okulamaga ku Lwokubiri nga June 3.
Ebikumi n’ebikumi by’abalamazi okuva mu disitulikiti y’e Kayunga ekola ddinale y’e Kayunga beegasse ku bannaabwe abava mu ddinale y’e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono ne basimbula mu maanyi enkya ya leero okwolekera Naggalama.
Abalamazi bano basimbuddwa Fr. Ignatius Ndawula, atwala ddinale y’e Naggalama ng’ono akuutidde abalamazi obutava ku mulamwa gubalesezzaayo maka gaabwe okwessa mu ddene okulamaga okugenda e Namugongo ku kiggwa ky’abajulizi okweyoolera ku nneema n’emikisa eby’abajulizi.

Abalamazi okuva e Kayunga kuliko abafudde ewala ennyo omuli ab’e Kitimbwa, Galiraaya ne Kangulumira n’e Kayunga mu ttawuni ng’abamu baatandika okutambula ku Lwokutaano ate abalala ku Lwomukaaga nga bano baasuze ku kigo e Naggalama nga bakedde kusimbula ku Ssande okwolekera e Namugongo.
“Ssikirungi kutambula lugendo luno lwonna ate oviiremu awo! Naddala ssinga tosigala mu nneema, n’otuuka e Namugongo n’ova ku mulamwa ogwakuggye ewaka ate n’otandika okweweebuula. Tugende twegayirire nga tuyita mu bajulizi basobole okutuyamba okufuna ebyo bye twetaaga,” bw’abategeezezza.

Ye Fr. Andrew Mugagga agambye nti ng’omuntu akkiririza mu bajulizi ba Uganda ng’ate nga ddinale y’e Naggalama y’evaamu abajulizi ababiri okuli Ponsiano Ngondwe ne Mukasa Kiriwawanvu nga bano be bokka abava mu ssaza lino ery’e Lugazi.
“Tugenda kwegayirira Mukama Katonda asumulule ebyo ebitukutte ng’ayita mu bajulizi ba Uganda. Tuli ba mukisa olw’omukisa guno gwe tufunye, naffe tugende tujulire ng’abajulizi nga wadde ffe tetuyiye musaayi, naye tugenda kuba twenenya ebyo ebitasanyusa Katonda,” bw’ategeezezza.

Essaza lya Klezia ery’e Lugazi lye likulembeddemu omulimu gw’okulamaga e Namugongo omwaka guno ng’omusumba atwala essaza lino, Christopher Kakooza y’agenda okukulemberamu mmisa ey’okulamaga ku Lwokubiri nga June 3.

Kitalo! Abazigu Bawambye Omusuubuzi ne Bamutta-Basabye Akakalu ka Kakadde ne Zubula!

