Kyofatogabye yatetegeezezza nti singa abatuuze bakozesa omukisa gw’enkulaakulana ereeteddwa kyadibawonya okusindiranga abakulembeze ebizibu buli kaseera nga ne be babisindira tebalina busobozi bubayamba kubivvuunuka.
Gun Wielding Claims Set in as Mukono NRM In-house Campaigns Get Bitter
BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO | KYAGGWE TV | Minisita omubeezi owa Kampala, Joseph Kabuye Kyofatogabye asabye abatuuze mu disitulikiti y’e Wakiso awali pulojekiti z’enguudo ezigwa mu nteekateeka evvujjirirwa bbanka y’ensi yonna nga mu kiseera kino zaatandika dda okukolebwa okukozesa omukisa gw’ensimbi ezigabibwa gavumenti eza PDM bongere mu bbizinensi zaabwe zisobole okuyitimuka.
Minisita Kyofatogabye agamba nti eri abo abalina bbizinensi, kye kiseera okufuna ssente zino Pulezidenti Museveni ze yateekawo okubayamba beekulaakulanye kyokka eri abo abatalina bye bakola mu kiseera kino, nabo bazeeyambise okutandika okukola.
Minisita yagambye nti mu kiseera ng’enguudo eziri mu kukolebwa okuyiibwa kkoolansi ssaako obutale obugenda okuzimbibwa mu nteekateeka eno eya Greater Kampala Metropolitan Area, okuli Wakiso, Mukono, KCCA, Mpigi, zaakuyamba okutereeza eby’entambula abantu kibasobozese okutambuza eby’amaguzi byabwe okubitwala mu butale.
Okwogera ebyo, Kyofatogabye, yabadde mu kutongoza okukola enguudo mu Wakiso mu nteekateeka eno omuli oluguudo lwa Kitemu – Naggalabi Spa 6.6km wamu n’oluguudo lwa Ssentema – Bukasa – Kakiri 12.17km nga zonna ziri wansi w’enteekateeka ya Greater Kampala evujjirirwa bbanka y’ensi yonna.
Yatetegeezezza nti singa abatuuze bakozesa omukisa gw’enkulaakulana ereeteddwa kyadibawonya okusindiranga abakulembeze ebizibu buli kaseera nga ne be babisindira tebalina busobozi bubayamba kubivvuunuka.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika yasabye Bannauganda okudda ku nkola ya bulungibwansi basobole okukuumanga enguudo zino nga ziri mu mbeera nnungi nga kye kyokka eky’okuzisobozesa okuwangaala ebbanga eddene.
Ate omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Wakiso, Justine Mbabazi yavumiridde eky’abatuuze abeesulirayo ogwa nnaggamba ku nsonga y’okulondoola emirimu egibeera gikolebwa gavumenti buli kimu ne bakirekera abakulembeze kye yagambye nti si kituufu.