Kyembuga avuganya ku kifo eky’obwa kkansala ggombolola erimu mu kkonsituwensi ya Mukono South ng’ayagala kukomawo ku disitulikiti gy’abadde ku kkaadi ya DP.
Lukooya, Over 50 Others Nominated for Mukono District Local Gov’t Positions
Nga banna NUP ba kakongoliro (Ffuutu Ssooja) bakaaba olw’okummibwa kkaadi okuvuganya ku bifo eby’enjawulo, ye abadde munna DP eyasaze eddiiro okwegatta ku NUP mu kiro kimu era ne kkaadi n’emuweebwa, ate ba ffuutu ssooja abamazeeko eby’ewungula bw’amazeeko olunaku lwa leero ng’ateetera ne ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono, Hajji Haruna Ssemakula.
Kyembuga eyakedde ku kitebe ky’akakiiko k’eby’okulonda e Mukono okukola ku by’okwewandiisa, abadde ali awo ne zireeta Hajji Ssemakula n’asanyuka okukira Munnabuddu akimezezza okw’enjala.
Ono agudde wansi n’abuuza ku Hajji Ssemakula olwo n’amukulemberamu ng’agenda amwanjula mu ba ccali be ababadde okumpi awo.
Wabula ono yagenze okukyuka ng’alaba kkamera zaffe zimutunuddemu n’asooka adduka n’asaba obutamutta kuteekayo bifaananyi bino ng’agamba nti ensonga za kkaadi zikyali za lusuubo anti tebannamuwa sitampu emukkiriza kwewandiisa ku kkaadi ya NUP.
Ono luno terumumalidde, Hajji Ssemakula olufulumye ng’amaze okuwerekera ku munnakibiina, Francis Lukooya Mukoome eyeewandiisizza ku kkaadi ya NRM okuvuganya ku kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti era n’amulumba ng’ate ku mulundi guno akisussizza!
Ono amukutte nga balinga abagenda okwesanyusaamu nga wano abatunuulizi baweze ne beewuunya omukwano gwa bano wa gye gwatandikira era wag ye gunaabakomya!
Nambooze Advises NUP Flag Rejects to Stand as People Power Candidates

Ono amusise ng’ayagala okumuzza ebbali abeeko by’amugamba era ebifudde mu kafubo kano abasinga tebabitegedde naye basigadde beewuunya bwewuunya.
Wano abasazi b’ebigambo batandise okubityebeka nga bagamba nti Kyembuga abadde asaba Hajji Ssemakula buyambi bwa nsimbi kulaba ng’ayingira akalulu mu maanyi.
Kyembuga avuganya ku kifo eky’obwa kkansala ggombolola erimu mu kkonsituwensi ya Mukono South ng’ayagala kukomawo ku disitulikiti gy’abadde ku kkaadi ya DP. Wabula nno mukazi wattu ab’amawulire tabaviiriddeeko awo, aliko omu ku bbo gw’ayisizzaamu eggaali era ono musajjawattu avuddewo amwasimula bugolo.