Kabaka ng'ayogerako eri Obuganda.

Mwegedereze Abeerimbika mu Mateeka Agaayisibwa N’ekigendererwa Eky’Okunafuya Buganda-Kabaka

1 minute, 29 seconds Read

Kabaka; “Akaseera ketuyingidde ak’eby’obufuzi gwe gumu ku miwaatwa eminene abalabe ba Buganda mwe batera okuyitira, mbasaba mubeere bagumu era abantu ab’engeri eyo mubeekengere.”

Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II alabudde abantu mu Buganda okwewala abantu abeerimbika mu mateeka agaayisibwa n’ekigendererwa okunafuya Buganda b’agamba nti bano abalabye emirundi mingi nga beefunyiridde okunafuya n’okunyigiriza abantu mu ngeri nnyingi.

Kabaka era alabudde Abaganda okwegendereza mu kiseera kino eky’okulonda eggwanga mwe liri nti emirundi mingi abalabe b’Obuganda mwe bayita okubaako bye bayisaawo. ono era abalabudde n’okunyiikirira okukola okwetusaako bye baagala baleme okudda mu kulindirira okubawa n’okusabiriza abo ababawa obunyeebwa.

bino bibadde mu bubaka bwa Kabaka eri abantu be ku mukolo ogw’Amatikkira ge ag’emyaka 32 ogukuliziddwa e Kibuli ku kitebe ekikulu eky’Abasiraamu.

Gov’t Bans Sale of Alcohol in Supermarkets, Online, Residential Areas

Obubaka bwa Kabaka mu bulambulukufu bwe buno wano wammanga;

Mbalamusizza mwenna,

Twebaza Katonda waffe atuwadde obulamu, obusobozi, n’okutukuuma okutuuka leero nga tujjukira amatikkira aga 32.

Tusiima n’okwenyumiriza ennyo mu bantu ba Buganda abali mu byalo, mu bibuga, amasaza era n’abo abali e bweru wa Buganda ne Uganda, wakati mu bisomooza ebingi ebiriwo ensangi zino, mulwanye masajja okukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo.

Tubeebaza bulijjo olw’okubeera abavumu n’okulemera ku nsonga ezikwata ku Bwakabaka bwaffe ekiseera kyonna, tusaba nti temuddirira, era mwewale abo bonna abagufudde omuze okwerimbika mu mateeka agatali matuufu okugezaako okunafuya obwakabaka, kino tukirabye emirundi mingi.

Abakulembeze mu Buganda ku mitendera gyonna tubeebaza, mubadde banywevu ddala mu mbeera zonna ezitwolekedde. Mikwano gyaffe mu Uganda ne mu Nsi endala muwagidde emirimu gy’Obwakabaka tubeebaza nnyo olw’okukolagana naffe.

Akaseera ketuyingidde ak’eby’obufuzi gwe gumu ku miwaatwa eminene abalabe ba Buganda mwe batera okuyitira, mbasaba mubeere bagumu era abantu ab’engeri eyo mubeekengere.

Tubasaba, nga bulijjo munyiikire okwekolera mmwe mwennyini okusinga okukaabirira n’okulindirira ababajja ku mulamwa nga babawa obunyeebwa.

Mbakwasa Katonda n’ekiseera kye tulimu, amiina.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!