Ye Muyanja ategeezezza nti okumujja ku kifo ky’obubaka bwa palamenti okudda ku ky’obwa ssentebe wa disitulikiti si kumussa ddaala kuba ate ye bw’anaawangula aggya kuba atwala kkonsituwensi zonna ennya eza disitulikiti y’e Mukono.
Besigye’s Unlawful Arrest Case Against Kenyan Government Given Hearing Date
Eby’obufuzi e Mukono bituuse we binyumira! We twogerera nga buli mbuzi etandise okudda ku nkondo yaayo. Olwa leero, abawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) e Mukono baakadde ku kitebe ky’ekibiina e Kavule okwanjulayo Johnson Muyanja Ssenyonga, ng’ono ayagala kuyita mu kasengejja k’ekibiina okukwata kkaadi okuvuganya ku kifo ky’obwa ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono.
Obutafaananako nga bwe gutera okubeera ku bavuganya abalala, ng’aba avuganya akwata bawagizibe b’agenda nabo ku kitebe naddala mu kiseera eky’okunoonya kkaadi, ye Muyanja akulembeddwamu ababaka ba palamenti okutandika n’akulira NUP mu disitulikiti y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke ng’ono era ye mubaka wa palamenti owa Munisipaali y’e Mukono, Abadallah Kiwanuka Mulimamayuuni, omubaka wa Mukono North mu palamenti ssaako Fred Ssimbwa Kaggwa, ng’ono mubaka w’e Nakifuma.
Nambooze ng’ayogera ku lw’ababaka abasigadde, ategeezezza nti wadde akakiiko akavunaanyizibwa ku kusunsula kanaakola ogw’ako okusalawo ani agwanidde kkaadi ku Muyanja n’abalala abaagisabye, bbo bavuddeyo okwanguyiza ku kakiiko omulimu nga balaga ani abantu b’e Mukono gwe baalabyemu omulimu era gwe balinze okulaga obuwagizi ku lw’ekibiina kya NUP.
Ng’asinziira ku lukungaana olwakubibwa omubaka w’e Nakifuma, Fred Ssimbwa okukunga obuwagizi bw’ekibiina mu kkonsituwensi, amyuka pulezidenti wa NUP mu Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi yawawaaza amatu ga Bannamukono bwe yategeeza ng’abakulu mu kibiina bwe baali bamaze okukkaanya ne Muyanja ne bamukkirizisa ave ku kifo ky’okuvuganya ku bubaka bwa palamenti obwa Mukono South bwe yali asabye, asale adde ku kuvuganya ku kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti y’e Mukono.
Muwanga Kivumbi yategeeza nti baali bakkaanyizza ne Muyanja, ekifo ky’omubaka wa Mukono South akirekere musaayi muto, Robert Maseruka, ng’ono era yaliko omukulembeze w’abayizi ba yunivasite y’e Makerere.
Ye Muyanja ategeezezza nti okumujja ku kifo ky’obubaka bwa palamenti okudda ku ky’obwa ssentebe wa disitulikiti si kumussa ddaala kuba ate ye bw’anaawangula aggya kuba atwala kkonsituwensi zonna ennya eza disitulikiti y’e Mukono.
Wabula wadde nga Bakaluba oluvannyuma lw’okuwulira ebigambo n’okusalawo kwa Muwanga Kivumbi yasooka kubuuka nswa, n’alangirira ng abwe yali agenda okusalawo okwesimbawo nga talina kibiina ku kifo kyonna ky’anaayagala okuli ne ku ky’obubaka bwa palamenti okuli ekya Mukono North oba Mukono Munisipalite, ono oluvannyuma yeekuba mu kifuba.
Bakaluba yamala n’avaayo n’ategeeza ng abwe yali atutte okwemulugunya ku kitebe kya NUP e Kavule ng’era asuubira okuwulirizibwa.