Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa, ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono ne Betty Nambooze Bakireke, omubaka wa palamenti owa munisipaali y'e Mukono.

NUP Teyandabyemu Mugaso-Kati Ndowooza Kuvugunya na Nambooze Zidde Okunywa-Rev. Bakaluba

3 minutes, 8 seconds Read

Amawulire gano tegayinza kuba malungi n’akatono eri omubaka Nambooze, kuba Bakaluba yamulozaako dda era bw’alangirira olutalo gy’ali, ekiba kimwolekedde aba akimanyi bulungi.

NUP Esaddaase Bakaluba, Kkaadi Baakugiwa Muyanja, Mukono South Maseruka Gwe Bawadde

Abaganda baagera nti, “Lw’oyagaliza muka kitaawo, lutta nnyonko”, sso nga ne bw’oba ogoba musajja munno, embiro olekamu ezinaakuzza. Wabula omubaka Betty Nambooze Bakireke bw’aba y’omu ku baabadde balima Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa empindi ku mabega, n’okumwogerera obubi ku kitebe kya NUP ng’ayagala bamumme kkaadi okuvuganya ku kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti ky’alimu kati era ku kkaadi ya NUP, kati ate lwandiba nga lumugejjedde!

Oluvannyuma lwa NUP okulaba nga Bakaluba bwe batagenda kumuwa kkaadi, mu bimu ku by’alowozaako, mwe muli n’okuvuganya ku kifo ky’obubaka bwa palamenti mu munisipaali y’e Mukono, ekibaddemu Betty Nambooze okumala emyaka kati abiri bwe ddu.

Wabula okugenda mu kifo kino, Nambooze yajjayo Bakaluba, ng’olwo Nambooze yali mu DP, nga ye Bakaluba ali mu NRM. We twogerera, ng’ak’omuntu bwe katali ka nte, ababiri bano bonna bali mu kibiina kimu ekya NUP, ng’era Nambooze ye yakulemberamu Bakaluba okumulaga mu bakulu, ne bamwesiga ne bamukwasa kkaadi, we twogerera, ababiri akambugu tebakyakalima!

Biki Ebiviiriddeko Bakaluba Obuzibu Abakulu mu NUP Okutuuka Okwetakkuluzaako?

Amawulire gano tegayinza kuba malungi n’akatono eri omubaka Nambooze, kuba Bakaluba yamulozaako dda era bw’alangirira olutalo gy’ali, ekiba kimwolekedde aba akimanyi bulungi.

Abaganda be bamu era baagera nti, ‘By’ogerwa mpola, ng’akuzaalira omukyala asera”, wabula ne mu kkowe eryo, ebigenda mu maaso ekiseera kino, Omubaka Nambooze yandiba nga teyandyetaaze kubiwulira, anti Bakaluba bw’akusimbamu emidumu, oba katugambe nti bw’akusula emiryango, emmanju toyinza kulonza ku mpeke ya tulo!

Embeera eno ey’obunkenke, era ekyusizza omuzannyo gw’eby’obufuzi mu ssaawa busaawa e Mukono yatandise kawungeezi ka Lwomukaaga, amyuka Pulezidenti wa NUP mu Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi bwe yakawangamudde n’agamba nti Johnson Muyanja Ssenyonga abadde yasaba kkaadi ku kifo ky’omubaka wa Mukono South mu palamenti, kyokka nga kino yategeezezza nti baagiwadde musaayi muto, Robert Maseruka.

Muwanga Kivumbi yasinzidde e Nakifuma ku mukolo ogwategekeddwa Fred Ssimbwa Kaggwa, ng’ono ye mubaka wa palamenti mu kitundu kino era nga ne kkaadi yateekamu okusaba akyagyetaaga addemu avuganye.

Kivumbi yategeezezza nti babadde bamaze akaseera nga boogerezeganya ne Muyanja era ne batuuse ku kukkaanya, ono akwate kkaadi ku kifo ky’obwa ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, ng’era kino Muyanja yalaze ng’akikkirizza.

Wabula bino byagenze okubeerawo ng’ate Bakaluba abadde mu kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti era kkaadi yagisaba, ng’ono baalaze nti ye tebakyamulabawo wadde ng’oba oly’awo babadde tebamutegeezanga.

Olwa leero ng’ayita ku mukutu gwa Whatsapp ogwa Mukono At Heart, Bakaluba atutte akaseera ng’ayogerezeganya n’abamu ku bammemba era bannamukutu guno ng’awa endowooza ze nabo ne bamuwa bwe balowooza. Abamu bamusabye ave ku bigambo bya Muwanga Kivumbi aggye yeesimbewo ku kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti nga Talina kibiina, wadde ng’abalala bamugamba nti aggye avuganye ku ky’obubaka bwa palamenti okuli mu Mukono munisipaali oba mu Mukono North.

Ono abalese mu masanganzira bw’ategeezezza nti k’amale okwetunulamu, aggya kusalawo oba avuganya ku munisipaali, Mukono North oba Mukono disitulikiti.

Omubaka Nambooze oluvannyuma lw’okugezaako okulambika Bakaluba ku butya bw’alina okuddukanyaamu emirimu nga bw’azzenga akola ku bakulembeze abalala, wabula ng’ono Bakaluba yagaana okumuwa obudde ekirabika nga kyamujja mu mbeera, yatandika okumusojja ng’avaayo n’enfunda ez’enjawulo n’amulumba okuli mu kkanso ng’eya munisipaali y’e Mukono, n’eza ddivizoni.

Wabula ye Bakaluba yamussa kasiiso ng’agenda mu maaso na kukola bibye, nga n’ekyavuddemu kye kino eky’okumumma kkaadi, ng’oba oly’awo Nambooze yabadde asuubidde nti amukubye ekkonde evvanyuma, wabula ate ku bigenda mu maaso, yandiba nga yeekuulidde akabazzi ku ntumbwe!

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!