Matia Nixon Ocheng alangiriddwa okukwatira ekibiina kya NRM ku kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti y’e Buvuma oluvannyuma lw’okuwangula akamyufu.
William Kanyike, akulira okulonda kwa NRM e Buvuma ye yalangiridde Ocheng ku buwanguzi oluvannyuma lw’okufuna obululu obusinga obungi, 11,520 n’addirirwa Mathias Ssemanda ku bululu 8,564, Allan Mugisha ku bululu 6,511, Yunusu Maganda 4716.
Lukooya Amezze Awuye mu Kamyufu ka NRM ku Kya Ssentebe wa Disitulikiti
Ocheng yaliko ssentebe w’eggombolola y’e Nairambi ng’ekisanja ekiwedde yavaayo okuvuganya ku ntebe ya disitulikiti wabula ne bitamugendera bulungi okukkakkana nga Adrian Wasswa Ddungu, ssentebe aliko kati ng’ayiseewo nga tavuganyiziddwa.
Ono agambibwa okuba nga yaleka omukululo era ng’eno y’ensonga abalonzi kwe baayimiridde okumwesigisa obululu bwabwe.
Wabula nga bwe gwabadde mu disitulikiti endala, abantu okulonda n’eno tebaakujjumbidde okusinziira ku muwendo omuwanguzi gwe yawanguliddeko nga gukola ebitundu 36.8 ku buli 100.
Town Clerk Pleads Guilty to Forgery Charges, Remanded Pending Sentencing