Najjuma agambye nti abakulu bano baakoze obukundi nga n’ekivuddemu ng’ebifo ebisinga byonna babyewadde ng’abava mu divizoni ebbiri okuli Bweyogerere ne Namugongo olwa ab’e Kira ne babasuula ettale.
UPDF Deserter Convicted, Sentenced to 35 Years in Jail for Murder
Bya Tonny Evans Ngabo | Kira | Kyaggwe TV | Bannakibiina kya National Resistance Movement mu munisipaali y’e Kira ababadde bakkanyizza ku bifo ebisinga n’ekigendererwa eky’obutateekawo kuvuganya ekitera okuvaamu embeera embi n’okwawulayawula mu bawagizi tebibagendedde bulungi.
Bano gye biggweredde ng’ate bazze mu kwerangira bunanfuusi nga kino kiddiridde omu ku babadde beesimbyewo ku kifo ky’omuwanika w’ekibiina, Juliet Najjuma Ssenkoole okulumiriza abakulembeddemu okulonda kwossa ne ssentebe wa NRM aweereddwa ekifo Mamerito Mugerwa okweyagaliriza ekisusse.
Najjuma agambye nti abakulu bano baakoze obukundi nga n’ekivuddemu ng’ebifo ebisinga byonna babyewadde ng’abava mu divizoni ebbiri okuli Bweyogerere ne Namugongo olwa ab’e Kira ne babasuula ettale. Okulonda kuno kuyindidde ku Don Gardens e Kira.

Na bwe kityo, Najjuma azize akalulu k’omumugongo nga ate mbu babadde bakkanyizza ne banne ekifo bakimulekere wabula kimubuuseeko nga bamutaddeko omuntu bwe batyo okukkakkana nga Kirabo Gorret alangiriddwa okubeera ow’eby’ensimbi ku lukiiko lwa NRM mu munisipaali y’e Kira.
Wabula ssentebe wa NRM alondeddwa era nga ye yaliko mmeeya wa ttawuni kkanso y’e Kira, Mamerito Mugerwa agambye nti ku mulundi guno ekibiina kibadde n’okulonda okw’emirembe wabula n’asaasira abamu ku bannakiina abazize okulonda nga beekwasa obusonga obutaliimu.
Mu balala abalondeddwa, ye Kananula Daniel aweereddwa ekifo ky’okubeera omumyuka wa ssentebe, Hon Busingye Penninah amanyiddwa nga Maama Kisanja alondeddwa nga ow’abakadde n’abalala.

IGG Finds Mukono CAO Culpable of Public Fund Misappropriation