Okutuuza Ssekiboobo e Kyaggwe: Ababaka ba Palamenti Ab’e Kyaggwe Baweze Okufa N’obutanyagwa ku Nsonga ya UCDA

Munnabyanjigiriza e Mukono n’emiriraano, Vincent Matovu Bintubizibu atuuziddwa nga Ssekibooboi ku mukolo amatendo ogubadde ku kitebe ky’essaza ly’e Kyaggwe mu Ggulu e Mukono. Omukolo gw’okutuuza Ssekiboobo n’abamyukabe ku lwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga gukoleddwa Minista wa Buganda ow’abavubuka, emizannyo n’ebitone Ssalongo Robert Sserwanga ne Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki.

Ssekiboobo akoze emikolo gy’eby’obuwangwa omubadde okukuba omubala ku nngoma eyitibwa Kagerekamu, okwambanzibwa ekyambalo ky’obwa Ssekiboobo n’okuyingizibwa mu nnyumba emanyiddwa nga Kagerekamu ng’eno y’ennyumba ey’omwami w’essaza ly’e Kyaggwe.

Abamyuka ba Ssekiboobo ababiri kuliko, omumyuka asooka, Moses Ssenyonjo Kiyimba ssaako omumyuka nnamba bbiri, Fred Katende Kangavve nga ne bano bayisiddwa mu mitendera gye gimu oluvanyuma ne bagoberera mukama waabwe Ssekiboobo ng’atwalibwa mu kidaala okulagibwa Bannakyaggwe.

Omukolo gwetabiddwako abantu ab’enjawulo omubadde ababaka ba palimenti, abakungu ba gavumenti abakulmbeddwa omubaka wa gavumenti owa disitulikiti y’e Mukono, Hajat Fatuma Ndisaba Nabitaka, abataka n’emikwano gya Kyaggwe abalala bangi ssaako abaana b’amasomero.

Omumyuka wa Ssekiboobo asooka, Moses Ssenyonjo Kiyimba ng’alayira, akutte omuzindaalo ye mukyalawe.

Omubaka akiikirira Buikwe South mu palamenti, Dr. Michael Lulume Bayiga, omubaka wa Nakifuma, Fred Simbwa Kaggwa, ow’ekibuga Mukono, Betty Nambooze Bakireke n’owa Mukono North, Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni be batalutumiddwa mwana.

Mu kwogera ku lwa banne, Dr. Lulume agambye nti ekibinja ky’akulembedde ky’eky’abalwanyi aboku mwanjo abaalayira okulwanyisa etteeka eryagala okuggyawo ekitongole ki UCDA ky’agambye nti abali emabega wa kino tebakikola mu mutima mulungi wabula kirina ebiruubirirwa ebikusike.

Lulume agumizza abantu nti ne bwe banaaba ba kuwangulwa, banaawangulwa bayimiridde naye nga tebatudde ku nsonga eyo.

Agasseeko nti; “Ffe tuli ku mwanjo mu lutalo luno; twalwaanyisa ensonga z’ettaka nga kati tukutte nsonga za mmwaanyi, ne bwe tunaaba ba kuwangulwa, tunawangulwa tuyimiridde naye nga tetutudde. Ennaku zino mwattu tetukyayagala kutuyita ba ‘honalebo’ kuba ekitiibwa kye kimu n’abeeyisa ng’ensolo kye beeyita.”

Bayiga awulikise ng’alinga ebigambo bye abitunuulizza sipiika wa palimenti Anita Annet Among ku bigambibwa nti yagamba nnampala wa gavumenti mu palimenti ng’amulagira okulaba nti Abaganda tebafuna muwendo gwa ssalira ku nsonga y’okugatta ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutumbula omutindo gw’emmwaanyi ku UCDA, yeebuuzizza nti oyo omusuubiramu bwenkanya nnaba ki?

 

Dr. Lulume Bayiga ng’ayogera. Okuva ku kkono; Omubaka Fred Ssimbwa Kaggwa ow’e Nakifuma, Dr. Lulume owa Buikwe South, Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni owa Mukono North ne Betty Nambooze Bakireke owa munisipaali y’e Mukono.

Mu kumwanukula, omubaka wa gavumenti Hajat Fatuma Ndisaba yebalamye okwogera ku nsonga z’emmwaanyi n’agamba nti ababaka abalina obuyinza okutuuka mu bantu babannyonyole, basaanye okufuna ekiseera bakke wansi basomese ku nsonga eno n’endala eziteesezebwako mu palamenti, bafune n’ebirowoozo by’abantu be bakiikirira.

Minista w’e Mengo ow’abavubuka, emizannyo n’ebitone Sserwanga awadde abavubuka ba Buganda amagezi obutamalira biseera ku bya bufuzi ebigenda mu maaso mu ggwanga ennaku zino, naye bettanire okukola okuva mu bwavu, kibawe ekiseera n’omukisa okuyiga engeri gye balina okwanganga abalabe ba Buganda b’agambye nti balinnyirira Nnamulondo.

Ssekiboobo Vincent Matovu ng’ayogera. Ku ddyo ye mukyalawe.

Ate Minista wa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Joseph Kawuki asiimye Ssekiboobo eyawummula omugenzi Alex Kigongo Kikonyogo, gw’ayogeddeko ng’eyakola ennyo n’asima omusingi omugumu okutambulizibwa emirimu mu ssaza ly’e Kyaggwe ebiro bino.

Agasseeko nti kino ky’e kisobozesezza ne Ssekiboobo Matovu okussaawo emirimu egirabwako mu bbanga ery’emyezi omukaaga gyokka.

Naye Kawuki abalabudde obutesuulirayo gwa nnaggamba naddala ng’abalabe banyaga ettaka ly’obwa Kabaka wamu n’okuyuuzayuuza Nnamulondo mu ngeri endala zonna.

Ssekiboobo Matovu abadde abugiriziddwa mukyala we, Dr. Lilian Matovu yeeyamye okukola buli ekisoboka okussa ettoffaali ku kuzza Buganda ku ntikko, ne yebazannyo minister Kawuki olw’okubayambanga buli kiseera ng’abalungamya ku nzirukanya y’emirimu.

Agambye nti bali ku mulimu gwa kugaba ndokwa za mmwanyi n’agamba nti  buli gombolola mu Kyaggwe lyalagirwa okussaawo omusiri gw’emmwanyi okw’okulabirwangako abalimi n’agattako nti we twogerera, eggombolola munaana zimaze okuteekawo emisiri gino.

Minisita Robert Sserwanga ng’ayogera.
RDC Fatuma Ndisaba Nabitaka ng’ayogera.

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!