Omubaka Medard Sseggona Asiibuludde Abasiraamu

0 minutes, 32 seconds Read

BYA ABU BATUUSA

Omubaka wa Busiro East Medard Ssegona asiibuludde Abasiramu ku muzikiti gwa Salama mu Nsumbi-Kyebando mu disitulikiti y’e Wakiso. Ssegona obubaka bw’okusiibulula Abasiraamu yabuwadde kkansala Twaha Ssekamatte.

Abasiramu baakulembeddwa Sheikh Hamuzah Buluhani Mukiibi ng’ono ye Imam w’omuzikiti guno yasiimye nyo omubaka Ssegona olw’okubasiibululanga buli mwaka.

Kkansala Twaha Ssekamatte alambuludde ebintu ebimutikkiddwa omubaka Sseggona okuli omuceere, ennyama, ssukaali, amenvu n’ebirala.

Sheikh Hamuzah Buluhani Mukiibi ne Sheikh Ssozi Siraje akulira Dawa ku Muzigiti guno baategeezezza nga bwe bali abasanyufu olw’omubaka Sseggona okubasiibululanga kumpi buli mwaka.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!