Okuva ku ddyo, ssentebe w'e Bwema Tusiime, RDC w'e Buvuma ebiseera ebyo, Nabirye ne Migadde ng'awaayo eryato n'ebirala eri ab'e Bwema.

Omubaka Migadde Ab’e Buvuma Abakutte Abanywezezza; “Obuvunaanyizibwa Bw’omubaka Mbukoze Abalonzi Tebalina Kye Bammanja”

6 minutes, 12 seconds Read

Rev. Kiggundu agamba nti Migadde adduukirira emirimu gy’ekkanisa n’enzikiriza endala kyokka ng’ate ayambye n’okutumbula si byanjigiriza byokka wabula n’eby’obulamu.

Omubaka Migadde eyawaddeyo embyulensi y’eryato ng’ayogera.

Omubaka w’e Buvuma mu palamenti, Robert Migadde Ndugwa y’omu ku bavubukma envumuulo ezeesogga palamenti mu mwaka gwa 2011 ng’aweza emyaka 29 gyokka. Migadde yali asikira omubaka William Nsubuga eyali akulungudde mu palamenti emyaka 10 bwe ddu.

Okusinziira ku yali ssentebe w’eggombolola y’e Busamuzi, Charles Aisu, agamba nti okuva kw’olwo, abalonzi tebajjusangako kusalawo kulonda Migadde olw’emirimu gy’akoze omuli okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’omubaka wa palamenti ate n’okukola emirimu mu kkonsituwensi egitamukakatako ng’omubaka wa palamenti.

Muno Aisu agamba nti mulimu okudduukirira abantu ababa bagudde ku bibamba eby’enjawulo, okuweerera abaana okuva mu bitundu eby’enjawulo eby’ebizinga by’e Buvuma naddala abo abagezi ate ng’oluusi ensimbi bazadde baabwe tebalina, okukwatiza ku baba bakola emikolo egy’enjawulo okuli egy’essanyu ng’okwanjula, embaga ssaako egy’ennaku gamba ng’ababa bafiiriddwa.

“Omubaka Migadde tumulaba mu palamenti ng’ateesa ate ne bwe gutuuka ku nsonga ezigwawo mu kkonsituwensi atuuka n’adduukirira abantu mu ngeri ez’enjawulo. Asakidde Buvuma ebintu bingi omuli okukozesa obukiiko bwa palamenti obw’enjawulo n’asaka enguudo, amasomero kuba kati we yaggyira nga tulina essomero lya gavumenti erya ssekendule limu erya Buvuma College omutaali na basomesa na bikozesebwa naye byonna kati byakyuka, naye we twogerera tugenda kuweza amasomero 4 aga ssekendule, gano kuliko Nairambi Seed School, Bwema Seed School ne Busamuzi Seed School enaatera okutandika okuzimbibwa, ezo ‘Seed school’ zizimbiddwa buli emu ku buwumbi buna obw’ensimbi,” Aisu bwe yategeezezza.

Omusumba w’obusumba bw’e Buvuma, Rev. Brian Kiggundu y’omu ku bamativu bwe gutuuka ku buweereza bw’omubaka Migadde ng’agamba nti akolaganidde wamu ne bakulembeze banne ne basobola okutumbula embeera z’ebizinga by’e Buvuma n’abantu ababiwangaaliramu.

Rev. Kiggundu agamba nti Migadde adduukirira emirimu gy’ekkanisa n’enzikiriza endala kyokka ng’ate ayambye n’okutumbula si byanjigiriza byokka wabula n’eby’obulamu.

“Omubaka ye kennyini alina amalwaliro abiri g’azimbye okuli ery’e Lukale lye yamala n’alikwasa gavumenti n’ery’e Kirewe, kino kikolwa kirungi abakaka abalala kye bandibadde bakoppa ne baba nga bayamba ku gavumenti, oba oly’awo olumu obuvunaanyizibwa bugiyinga naye ate abantu ba ssekinnoomu mu mutima omulungi bwe bagikwasizaako, kiyambako ate nayo n’etandikira we baba baakoma,” Rev. Kiggundu bwe yagambye.

Mu kiseera kino, omubaka Migadde agamba nti eddwaliro ly’e Lukale oluvannyuma lw’okutwalibwa gavumenti nga liri ku mutendera gwa Health Centre II, mu kiseera kino lyasuumusibwa ne lituuka ku mutendera gwa Health Centre III ekigenda okwongera ku buweereza mu kitundu.

Migadde agamba nti mu mwaka gwa 2018, yategeeza palamenti embeera embi ey’eby’obulamu mu bizinga by’e Buvuma era sipiika wa palamenti n’alagira Minisita okulaba ng’alondoola ku nsonga eno.

Na bwe kityo, eyali Minisita omubeezi ow’eby’obulamu Sarah Opendi yabiteekamu engatto n’agenda alambula embeera y’amalwaliro mu bizinga ng’era bwe yadda mu palamenti n’agitegeeza kye yali alabye ekyavaako okusuumusa amalwaliro okuli Lukale, Nkata, Lwaje, Lubya ne Buwooya okuva ku mutendera gwa Health Centre II okutuuka ku Health Centre III.

 

Migadde era agamba nti olw’okuba bali mu bizinga ng’entambula nzibu nnyo okuli okusala amazzi sso ng’ate ssinga embeera y’abalwadde eba abalemeredde nga beetaaga okwongerwayo mu malwaliro amanene okuli Kawolo, Mulago n’e Jinja ng’era kyakaluubiriranga nnyo abantu, yakwata mu nsawo mu mwaka gwa 2020 n’agula embyulensi ey’emmotoka ng’eno y’eyambako ku Bannabuvuma.

“Eno nnali nnagikwasa disitulikiti egirabirire omuli okuteekamu amafuta, okugikanika ng’efudde n’okusasula ddereeva waayo wabula kyabalema era kati ebyo byonna nze mbikola ng’omuntu. Yali yagwa ne ku kabenje, naakamala okugyongeramu obukadde 28 okusobola okugizza ku luguudo,” bw’agamba.

Migadde agamba nti ng’omubaka era awagidde nnyo enteekateeka za gavumenti omuli n’eriwo kati ey’okulima ebinazi ng’eno kati abantu batandise n’okufuna ku nsimbi ate ng’era yabayamba n’okufuna ekidyeri ekipya ekinene ddala ekyalongoosa eby’entambula bya Bannabuvuma.

No Room For Arguments, Court Martial Further Remands Besigye

“Ng’omuntu nnyambye abantu mu bibiina ne ku mutendera gwa ssekinoomu, nayamba abantu okufuna looni za bodaboda wadde ng’ate abasinga bwe bamala okuzifuna tebaagala kusasula, n’abamu ku bavubi nnabafunira looni za yingini z’amaato, naye era ng’olumala okuzifuna nga basenguka ekyansuula mu buzibu ng’ate nze mmala ne nsasula kuba nze mba nnakola ng’omusingo.

Nnyambyeko okutumbula ebitone, essaza ly’e Buvuma nditeeramu ddala ensimbi ezisoba ne mu bukadde musanvu buli ssizoni era abaali ba nnamba lujega, ssizoni ewedde amasaza bwe twabadde mu kibinja gaalozezza ku bukambwe bwa ttiimu yaffe. Emipiira egy’ebyalo ngitegese okuva mu 2011 n’okutuuka olwa leero, nga ttiimu ez’enjawulo nzigulira emipiira n’emigyozi n’ebirabo ebiwangula okuli ebikopo n’ensimbi enkalu, ente n’embuzi,” bw’agamba.

Kuno agasseeko okugaba enkoko, embizzi, embuzi n’ebirala omuli n’okudduukiriranga abantu ababa bafunye obuzibu n’ensimbi enkalu.

Ng’afundikira, Migadde agamba nti engabo agirumizza mannyo, ate olunaawangula mu 2026, wakwongera okulaba amaanyi n’obuweereza obw’omulembe eri abantu b’akiikirira.

Wabula wadde ebyo byonna omubaka Migadde abikoze, tekigaanye bantu kumuvuganya, mu bamu ku baamaze okuggyayo obwanga mwe muli ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma, Adrian Wasswa Ddungu ng’ono agamba nti ekita ekitava ku ssengejjero kifuuka wankindo sso nga n’enswaswa etayanula nayo emaliriza ereeze engalabi.

Ddungu agamba nti emyaka 15 Migadde gy’abakalakase gimala bumazi nga kye kiseera awummuleko aleke nabo engasi bagikwatemu aleme kufuuka mulungi omu.

Ddungu yafuuka ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma mu 2011 wabula yafuga ekisanja kimu bwe yaddamu okwesimbawo n’awangulwa Alex Mabiriizi. Wabula mu kalulu akawedde mu 2021, ono yaddamu okwesimbawo era nga ku mulundi guno, mu kamyufu ka NRM yawangula buto Mabiriizi ate bwe gwatuuka mu kulonda kwa bonna, yayitawo nga tavuganyiziddwa.

Adrian Wasswa Ddungu, ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma awera okusiguukulula Migadde.

Wabula mu kiseera kino, Ddungu buli gy’ayita agenda asiibula nga bw’ategeeza ng’omutindo gwe kati bwe gulinnye ng’ayagala kugenda mu palamenti atuuse ebirowoozo by’abantu mbu n’azina obulungi amala n’ava mu ddiiro.

Waliwo omusawo John Bunjo ng’ono aweereza mu disitulikiti y’e Buvuma ng’alaga munnakibiina kya NUP ng’agamba nti bwe kataligirya… ono awera nti ka gwakwe k’etonnye, agenda kukiikirira bantu b’e Buvuma mu palamenti nti eby’obufuzi by’omulembe guno byetaaga bavubuka bato nga ye.

Philly Katamba ng’ono asibuka mu Buvuma town council naye yatandika dda okutalaaga ebyalo ng’ategeeza abantu nti ye yekka ye ssuubi lya Buvuma mu 2026.

Disitulikiti y’e Buvuma efumbekedde mu bizibu bingi nga mu kiseera kino n’obwavu obukudde ejjembe kye kimu kw’ebyo ng’entabwe eva ku bizibu ebingi ebyetobese mu nnyanja ate ng’eno ye yali nnakazadde eyali ewaniridde ennyo abavubi naye eby’ennyanja okuggwa mu nnyanja nga kino ku nvuba emenya amateeka ate kati n’okuteeka ekkomo ku kuvuba kwa mukene nga bakozesa enkola ya hariyaapu eyali ebayamba okuvuba mukene mu bungi ne bafuna ensimbi nakyo kyayongera kusajjula mbeera.

Mu kiseera kino, abantu bangi e Buvuma abatakyalina wadde obusobozi obusomesa abaana baabwe. Eby’enjigiriza nabyo wadde gavumenti erumye n’ogw’engulu okuzimba amasomero okuli n’okutwala ago agaazimbibwa edda ag’obwannanyini okugafuula aga gavumenti naye ebizinga bingi ebiri eyo eby’esudde naye nga tekuli wadde akasomero akamu. Ate bwe gutuuka ku by’obulamu, ate ekyo kikyali kitalo butalo. N’ebizibu ebirala bingi ng’eno abalonzi bakyatunuulidde gavumenti.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!