Mu buufu obw’okutumbula ebitone bya bamusaayi muto, Omubaka wa palamenti ow’ebizinga by’e Buvuma Robert Migadde Ndugwa ayiye omusimbi mu mwana Jesse Musubo omuyimbi era omuzinyi.
Omubaka Migadde agulidde musaayimuto Jesse ennyimba bbiri ezaawandiikiddwa omuwandiisi ow’erinnya abasinga gwe bamanyi nga 14 K Bwongo n’amusasulira ne studio ey’erinnya mu Kampala n’abiteekamu engatto n’agenda alikoodinga ennyimba ze.
Omubaka Migadde oluvannyuma lw’okuwulira ku nnyimba za Jesse ng’amaze okuzirikoodinga, asiimye ekitone omwana ono ky’alina n’asuubiza nti agenda kumwongeramu omusimbi akole ne vidiyo z’ennyimba zino.
Jesse yalumba omutimbagano omwaka oguwedde oluvannyuma lw’omuyimbi Gravity Omutujju okugenda mu bizinga by’e Buvuma ku kifo ky’omubaka Migadde ekisanyukirwamu ekya Buvuma Palm Resort okukuba abaayo omuziki. Ono nga yali omu ku bantu abajja okunyumirwa endongo ya Gravity, yalaba Gravity akuba abantu omuziki n’alinnya siteegi nga yatandika na mazina n’akakasa abantu ate teyalwa n’okuyimba n’ayimba olwo n’Omutujju ne be yali atambudde nabo enviiri ne zibava ku mutwe.
Gravity yayiira Jesse omusimbi n’essaawa gye yali asibye era n’asuubiza n’okumukolerayo oluyimba. Wabula ekisuubizo kya Gravity okumukolera oluyimba kyo kibadde tekinnatuukirira.
Jesse era bwe yawulira nga Gravity agenda kubeera e Mukono, yamulumba ne ku Summer Garden n’amuddamu n’amukakasa buto.
Ennyimba za Jesse ebbiri, olumu luyitibwa Kisoboka, nga wano alombojja engeri gye yatuuka okuzuulibwa Gravity ate n’omubaka Migadde n’atuuka okumuteekamu ensimbi ezikola ennyimba kye yali talowozanga nako. Ayogera ne ku Kyaggwe TV ey’omutimbagano gwa YouTube eyakwata bye yakola ne Gravity e Buvuma n’ebiwa abantu era ne babyagala nnyo naye ekyamuwa amaanyi.
Mu luyimba lwe lumu luno olwa Kisoboka, Jesse awa abantu bonna essuubi nti oli kasita ataggwamu maanyi, aba asobola okufuuka ekitasuubirwa ab’omulembe guno kye bagamba nti aba akyayinza okubotola n’ayitamu nga ye bwe yakola.
Oluyimba lwa Jesse olulala luyitibwa Mu Ngoma.
Mu kiseera kino Jesse ayolekedde kutambuza nnyimba zino zituuke ku mikutu egy’enjawulo okuli Radio oba n’emitimbagano olwo agende okukola video ng’abantu baamutegeera dda.