Yusuf Awuye ku kkono n'abakungu ba FUFA abalala.

Omukungu wa FUFA Yeesozze Olw’okaano Lw’okuvuganya ku Bwassentebe bwa disitulikiti y’e Mukono

1 minute, 21 seconds Read

Abasatu bano okuli Awunye, Lukooya ne Lugoloobi baakuvuganya mu kamyufu ka NRM okuvaako omu anaakwatira ekibiina bendera ng’oyo gwe bujja okwefuka ne ssentebe wa disitulikiti aliko kati, munna NUP, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa, ekibiina kye bwe kinaaba gwe kizzeemu okuwa kkaadi okukikiikirira mu lw’okaano luno.

Amaziga Mu Kusabira Ddayirekita W’essomero Abazigu B’emmundu Gwe Batta

Olw’okaano lw’okuvuganya ku kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti y’e Mukono lweyongeddemu ebbugumu, omukungu wa FUFA, Yusuf Awuye bw’alwesozze.

Awuye omutuuze w’e Kyetume mu ggombolola y’e Nakisunga yeegasse ku bazooka okuvaayo omuli eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Francis Lukooya Mukoome ssaako Jimmy Logoloobi ng’ono ye ssentebe w’omuluka gw’e Nantabuulirirwa mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono.

Abasatu bano okuli Awunye, Lukooya ne Lugoloobi baakuvuganya mu kamyufu ka NRM okuvaako omu anaakwatira ekibiina bendera ng’oyo gwe bujja okwefuka ne ssentebe wa disitulikiti aliko kati, munna NUP, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa, ekibiina kye bwe kinaaba gwe kizzeemu okuwa kkaadi okukikiikirira mu lw’okaano luno.

Yusuf Awuye Y’ani?

Awuye ky’aggye alondebwe ng’omumyuka wa ssentebe wa NRMowa disitulikiti y’e Mukono ng’obuwaguzi bwe yafunye bwabadde bwamaanyi n’akubira waggulu abasajja abaludde mu by’obufuzi by’e Mukono omuli Andrew Ssenyonga eyaliko ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Davis Lukyamuzi, eyaliko kkansala ku disitulikiti y’e Mukono ng’akiikirira eggombolola y’e Naggojje, Hajji Kitaka Kavulu n’abalala.

Ono mukommonsi wa ffirimbi ali ku ddaala lya FIFA naye nga yawummula, nga mu kiseera kino kkomisona mu CAF.

Francis Lukooya Mukoome, yaliko ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!