Blick Ssemwanga omuyizi ku St. Andrews Secondary and Vocational School e Nakisunga mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono yayise ebya S4 era yeesunga kusoma kufuuka ddokita.
Ssemwanga mutabani wa Florence Nantongo akolera mu katale ka Kame Valley e Mukono ng’atunda bikozesebwa mu kusoma ne Kennedy Kiganda ab’e Nabuti mu munisipaali y’e Mukono. Yafunye A mu Physics, Chemistry, Biology ne Maths sso ng’amasomo agasigadde yafunye B.
Ssentongo kitundu ku bayizi abaayitidde waggulu ebigezo bya S4 ku ssomero lya St. Andrews Secondary and Vocational School e Nakisunga okusinziira ku ddayirekita waalyo, Andrew Kasumba bw’agamba.

Mu kwogerako ne Ssemwanga, agamba nti obukulembeze bw’essomero, n’abasomesa obudde bwe bawa abayizi bibayambye nnyo okuyita. Ono agamba nti ate okukira ku masomero amalala agasomesa eby’omukibiina byokka, bbo essomero lyabwe essira libiteeka ne ku masomo g’emikono omuli okukola amasannyalaze, okwokya ebyuma, okufumba, okutimba, okutunga n’ebirala.
“Nze ng’omuntu, essira naliteeka ku bya masannyalaze era we nnamalidde ssiniya ey’okuna, nga mmaze okukuguka mu kuwayalinga ennyumba. Kino kinfuula wa njawulo ku bayizi abalala bwe twakoze ebya S4, kuba ate nze kkati nnina n’obukugu obwo bannange abali mu masomero amalala bwe batalina. Ekyo nno nakyo nkyebaliza abakulembera essomero lyaffe n’abatandisi baalyo,” bwe yategeezezza.
Ssemwanga agamba nti okweyongerayo mu A Level, ayagala kukola Biology, Chemistry ne Mathematics (BCM/ICT), ng’alina essuubi nti nga Katonda bw’ali omulamu, amasomo ago era aggya kugayitira waggulu asobole okwegatta ku yunivasite ate eyo gy’aliva ng’afuuse ddokita alongoosa abalwadde, (surgeon).