Essomero lya Naggalama Secondary School likubye budinda ebibuuzo bya S.6 ebifulumiziddwa olunaku lwa leero. Essomero lino erisangibwa ku kyalo Bunyiri mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono lifunye abayizi basatu abamazeeyo obubonero 20 sso ng’ate 10 bbo bafunye obubonero 19 ne balekayo kamu kokka.
William Nyanja, omukulu w’essomero lino ayogedde ku buwanguzi bwe batuseeko n’ategeeza abayizi mu ssomero lye b’ayise ku paleedi ebivudde mu UNEB era enduulu n’emizira ne bisaanikira essomero.
Nyanja agambye nti omwaka oguwedde, mu bigezo bya S.6 bwe byafuluma, yalina omuyizi omu eyafuna obubonero 20 abalala ne bafuna 19, 18 n’okudda wansi wabula abamu ku bwe bali mu kisaawe ky’eby’enjigiriza baamulerega nga bagamba nti okufuna 20 kyali kimugwiridde bugwizi nga ku mulundi guno ng’afunye abayizi basatu abategeezezza nti kale baddemu boogere.
Abamu ku bayizi abafunye obubonero 20 okuli Sulaiman Kasiriivu ne Allen Nabayunga boogedde ku by’abayambye okutuuka ku buwanguzi.
Nabayunga ategeezezza nti maamawe Jacqueline Nabatanzi omutuuze w’e Wakiso yasanga obuzibu bunene nnyo okufuna ebisale nga yayagala n’okumusindika mu kkoosi wabula n’alemerako ng’agamba nti yali ayagala kusoma kufuuka munnamateeka ekitandibadde kyangu ssinga yali teyeeyongeddeeyo ku ‘A’ level.
“Maama nnamusuubiza nti ku S.6 nja kufuna kukola bulungi nsobole okufuna obubonero 20 olwo ngende e Makerere ku yunivasite ku gavumenti. Ndi musanyufu nnyo nti kino kituukiridde,” bw’annyonnyodde.
Nabayunga yakola amasomo okuli; History, Luganda, Divinity ne ICT ng’agamba nti mu bulamu ayagala okusomerako mu Harvard University ng’alina essuubi nti Katonda amufunyisizza obubonero 20 era waakumuyamba ekirooto kye kino kituukirire.
Kasiriivu nga mutabani wa Josephine Nansukusa ne Sulaiman Kabenge abatuuze b’e Kalagi mu ggombolola y’e Kyampisi e Mukono nga naye yafunye obubonero 20 ye yakola amasomo okuli History, Entrepreneurship ne Luganda ne ICT.
Ukasha Katende yafunye obubonero 19 nga yakola History, Entrepreneurship, Luganda ne ICT. Katende mutabani wa Abdul Ssettuba ne Mariam Nalumansi ab’e Namuyenje mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono. Ono agamba nti mu ttaamu ey’okubiri, yafuna obuzibu ku mutima n’atuuka n’okuweebwa ekitanda mu ddwaliro e Lubaga ng’ono ayagala kusoma mateeka oba obusomesa.
Ate Maria Kisakye nga naye yafunye obubonero 19, yakola Divinity, Entrepreneurship, Luganda ne ICT.
Ye Angel Nakintu, yafunye obubonero 18 nya yakola amasomo okuli Physics, Entrepreneurship, Maths ne ICT. Nakintu muwala wa Francis Musisi ne Victoria Nalugga abatuuze b’e Namungoona mu divizoni y’e Lubaga mu kibuga Kampala ng’agamba nti ayagala kukola Civil Engineering e Makerere University.
Omukulu w’essomero Nyanja akoowodde abazadde okuleeta abaana mu ssomero n’agamba nti bakyalina ebifo mu S.1 ne S.5.