Ddereeva wa ttakisi ne kkondakita we baasimattuse okuttibwa abavuzi ba bodaboda bwe baabaguddeko ekiyiifuyiifu ne babakuba ne babaleka mu kkubiro.
Norman Kagame omuvuzi wa ttakisi nnamba UAY 458V ne ddereeva we Sadat Walakira be bagudde ku kibabu aba bodaboda bwe babakubye ne babayuliza n’engoye nga poliisi y’ebabataasizzaako.
Abazirakisa balabye aba bodaboda buli ava gy’ava y’asimba pikipiki n’adda ku ba ttakisi nga tamaze na kubuuza musango gwe bakoze ng’akuba kwe kukubira poliisi y’e Mukono essimu nayo esitukiddemu n’etuuka okusobola okutaasa abakube nga tebannayongera kubatusaako buvune.
Olutalo luno lubadde Mukono ku luguudo oluva e Kampala okugenda e Jinja ku ssundiro ly’amafuta eritunudde mu kiva ku kkooti enkulu oba ku disitulikiti y’e Mukono abasing we bamanyi nga ku Works.
Ddereeva wa ttakisi Kagame ategeezezza nti abadde ava Kampala ng’adda Jinja olwo owa bodaboda abadde ayingira ekkubo kwe kukoona ku w’emmotoka ekika kya Probox n’agwa n’akooza ne ku ttakisi yaabwe ate olugize n’atandika okubaggulako olutalo.
Agamba nti ono yeegattiddwako banne ne batandika okubakuba okutuusa poliisi lw’ebataasizza. Amannya g’abakwate tegategeerekese.
Poliisi esobodde okukwatako aba bodaboda babiri n’ebateeka ku kabangali yaayo n’ebatwala ng’okunoonyereza ku musango guno bwe kugenda mu maaso.
Ebikolwa eby’okutwalira amateeka mu ngalo biri waggulu nnyo naddala mu bavuzi ba bodaboda ng’abantu bangi battiddwa mu mbeera efaanaganako ng’eno nga n’oluusi tebalina musango.
Kaweefube waffe okufuna poliisi ky’egamba ku musango guno agudde butaka oluvannyuma lw’omwogezi wa poliisi avunaanyizibwa ku Kampala Metropolitan, Patrick Onyango n’omumyukawe, Luke Owoyesigyire okugaana okubaako kye boogera.