Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Buvuma (RDC), Jackeline Kobusingye Birungi ng’ali wamu n’aduumira poliisi mu bizinga by’e Buvuma Micheal Bagoole balabudde okuggalira n’okukangavvula abantu bonna abaneekiika mu nteekateeka ya gavumenti ey’okugema omusujja gw’enkaka.
Okugema omusujja gw’enkaka (Yellow Fever) kwatandise ku Lwokubiri nga April 2 nga kugenda kutambula okutuuka nga April 8, nga kutambudde mu disitulikiti ezisinga obungi eziri mu bulabe bw’omusujja guno mu Uganda yonna.
RDC Kobusigye ategeezezza nti abantu b’e Buvuma batera okusimbira ekkuuli ezimu ku nteekateeka za gavumenti kyokka n’alabula nti oyo yenna gwe banaakwatako ng’alina engeri yonna gy’akolamu oba okugaana okugemebwa oba okukweka abaana abali mu myaka egigemebwa nga talina nsonga nnambulukufu, tebagenda kulonzalonza kubakwata ababaggalire ku poliisi era baggulibweko emisango egy’enjawulo omuli ogw’okugotaanya enteekateeka za gavumenti n’emirala.
Dr. Anthony Kanyike, atwala eby’obulamu mu disitulikiti y’e Buvuma ategeezezza nti okugema kuno kutwaliramu abantu bonna abali wakati w’omwaka gumu n’emyaka 60.
Wabula minisitule y’eby’obulamu efulumizza obubaka bng’eraga abantu abalina kugemebwa okuli; abakyala abalina embuto, ba maama abayonsa, abaana abali wansi w’emyezi mwenda, omuntu yenna agenda mu maaso n’okufuna obujjanjabi bwa kkansa, oyo akyusiddwa ekitundu kyonna eky’omubiri ng’akyali ku bujjanjabi obumanyiddwa nga ‘immunosuppressive drugs’.
Abalala be bantu abakulu abali waggulu w’emyaka 60, abantu abalina obuzibu n’okulya amagi, n’abalwadde abalina akawuka akaleeta obulwadde bwa mukenenya (HIV/AIDS).
DPC Bagoole ategeezezza nti ng’olukiiko olufuga eby’okwerinda e Buvuma, baasazeewo okukolera awamu okulaba ng’omulimu guno gugenda bulungi mu buli kitundu ky’ebizinga kyonna ewatali kulemesebwa.
Omubaka w’ebizinga by’e Buvuma mu palamenti, Robert Migadde Ndugwa akunze abantu okwettanira okugemesebwa ekirwadde kino n’agamba nti eno nteekateeka ya gavumenti okulaba ng’abantu baayo babeera balamu kuba bwe babeera abalamu kikendeeza ne ku nsimbi ezisaasaanyizibwa mu kwejjanjaba.
Bino bituukiddwako nga bali ku woofiisi y’abalimi b’ebinazi esangibwa e Maggyo mu ggombolola y’e Nairabi mu disitulikiti y’e Buvuma.