Ssaabalabirizi Kazimba Agobezza Abaweereza mu Kkanisa Eby’obufuzi

1 minute, 37 seconds Read

Ng’eby’obufuzi bizinzeeko buli kimu mu kiseera kino mu ggwanga, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ayimirizza abaweereza okuyingiza eby’obufuzi mu kkanisa.

Ssaabalabirizi agambye nti ekkanisa ya buli omu nga tesosola mu langi, emmyufu, eya kyenvu, bbulu, kiragala n’endala ng’omuweereza mu kkanisa bw’atandika okusukkulumyako abamu ku bantu ba Katonda olw’eby’ebigendererwa eby’eby’obufuzi, ekyo kiba kikyamu ekitalina kulabikako mu kkanisa yonna.

Bino Dr. Kazimba abyogeredde ku kkanisa ya St. Andrew’s e Kisoga-Mukono ng’akulembeddemu okusabira omwoyo gw’omugenzi Wilson Kyeswa Tekya abadde omukubiriza w’Obusumba bw’e Kisoga mu Busabadinkoni bw’e Mpumu mu Bulabirizi bw’e Mukono.

Kiza Besigye Condemns Police Brutality Against Opposition Politicians

Ono acoomedde abantu abalulunkanira ebintu by’ensi omuli emmere n’ennyama ku mikolo nga b’eerabidde nti ebyo bya nsi, n’abasaba essira okuliteeka ku kululunkanira ebya Katonda.

Ssabalabirizi Kazimba yennyamidde era n’asaasira omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olw’eddimu ly’aliko mu kiseera kino ery’okulwanyisa obuli bw’enguzi obufuuse baana baliwo mu buli kitongole kya gavumenti ne woofiisi zonna.

Kazimba agambye nti yeewuunya kino bwe kinaasoboka ng’ate n’abali mu kulwanyisa enguzi, nabo balyake n’agamba nti kino okusoboka Uganda yetaaga mukono gwa Katonda okukugikomako, ng’ewatali ekyo kyakubeera kizibu ddala.

Wilson Kyeswa Tekya, omugenzi.

Ssaabalabirizi Kazimba yeekokkodde abakkiriza abakyalemedde mu kweraguza, ne beesiga endagu n’ebitaliimu ne balema okunywerera mu kukkiriza Katonda nti asobola okubavvuunusa ebibasomooza.

Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abaami abafumbo mu Bulabirizi bw’e Mukono, Godfrey Kyeswa agambye nti omugenzi Wilson Kyeswa abadde mujjumbize eri enteekateeka z’ekkanisa era nga yenyigira mu nteekateeka zonna ez’ekibiina kino naddala ez’okwekulaakulanya.

Omugenzi Wilson Kyeswa Tekya yafiiridde ku myaka 76 egy’obukulu ng’agenda kuziikibwa lwa leero ku Lwokusatu ku kyalo Buwaali ekisangibwa mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!