Ssaabasumba ng'ayita mu katale k'e Nansana ke baayonjezza ne bakaleka nga katemagana.

Ssabasumba Ssemwogerere Mwenyamivu Olw’obunkenke Obususse mu Ggwanga

2 minutes, 21 seconds Read

BYA TONNY EVANS NGABO

NANSANA | KYAGGWE TV | Omulangira wa Klezia, Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemwogerere alaze okutya n’okunyolwa olw’ebikolwa ebikuumira abantu ku bunkenke ebyogera mu ggwanga buli lukya.

Ssaabasumba agamba nti abantu mu ggwanga basusse okuliisa bannaabwe akakanja ne bababuzaako obwekyusizo nga buli kadde babakuumira ku bunkenke.

Okwogera bino, Ssaabasumba abadde akulembeddemu okukumba okw’emirembe n’okukola bulungibwansi mu katale ka Nansana Daily Market mu kaweefube w’essaza ekkulu ery’e Kampala gwe libaddeko nga litongoza omwezi gw’eddembe n’obwenkanya.

Ssaabasumba ng’ayogera ne meeya w’e Nansana Bakitte.

Ekigendererwa mu kino kwe kulaba ng’emirembe gibukala mu ggwanga lyonna. Omwaka guno essira liteekeddwa ku nsonga y’okukozesa omutimbagano okukyusa embeera z’obuntu mu kulafuubanira emirembe mu nsi yonna.

Ssaabasumba ng’ayogerako eri abakulembeze n’abasuubuzi mu katale e Nansana akangudde ku ddoboozi ng’agamba nti Bannayuganda basusse okubeera abagayaavu abatayagala kweyonja ne bakanya kimu kya kukowoola gavumenti ebayambe.

Shock as a Senior Three Student Gives Birth to Four Babies

Ssaabasumba nga ye kennyini yeenyigidde mu kulongoosa.

Bwatyo asabye abakulembeze okuvaayo mu bwangu okutaasa embeera gy’agambye nti esusse ku bw’omulamuzi. Ekimu ku by’asonzeemu olunwe be bantu abamansa kasasiro buli we basanze nga kino terikiri ku Bannakibuga bokka wabula n’abali mu byalo.

Akulira ekitongole kya Justice and Peace   mu ssaza ekkulu ly’e Kampala, Rev. Fr. Emmanuel Ssita asinzidde  wano n’ategeeza nti ssinga abantu bakolerera obwenkanya mpaawo kiyinza kuziyiza mirembe kubeera mu ggwanga.

Meeya wa munisipaali y’e Nansana, Regina Nakkazzi Bakitte era nga ye pulezidenti w’obwenkanya n’eddembe mu ssaza ly’e Kampala avumiridde abavubuka abalemeddwa okukozesa omutimbagano okubaako kye bafuna wabula ne bagweyambisa kuvvoola balala.

Mu bakulembeze  abalala okubadde omubaka wa munisipaali y’e Nansana mu palamenti, Wakayima Musoke Nsereko , meeya wa divizoni y’e Nansana, Ssalongo Joseph Matovu ne meeya Moses Bisaso ow’e Kakiri  balaze okutya olw’obenkanya obukyabuzeewo mu bitundu by’omumasekkati gw’eggwanga.

Ssaabasumba ng’asimba omuti ng’akabonero ak’okukuuma obutondebwensi.

Ate y’eyaliko omubaka wa Makindye Ssaabagabo mu palamenti, Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene yennyamidde olw’abali  mu buyinza obutafaayo ku nsonga y’okukuuma obutondebwensi nga ekisinga okumala amaanyi kwe kuba nti abali mu gavumenti be basinze okubusaanyawo.

“Kikwasa ennaku okulaba ng’ate NEMA n’abakulu okuva mu minisitule etwala obutondebwensi essira baliteeka ku bantu abanaku abatalina kye balina ne babawalanya ng’ate abagagga abazimbye mu ntobazzi n’okuyiwa obucaafu mu migga n’ennyanja babamanyi naye teri wadde abasongamu olunwe. Olwo obw’enkanya bwe buliwa mu nsonga zino, kibi nnyo!” bw’ategeezezza.

Enteekateeka eno ekulembeddwamu  okusimba emiti , bulungibwansi , olusiisira lw’eby’abamateeka n’olw’eby’obulamu nga ekitongole kya Krezia ekya Catholic Centre for Legal Aid Service wamu n’aba St Joseph’s Hospital e Wakiso be babikulembeddemu.

Ettemu e Mukono: Owa Bodaboda Attiddwa mu Bukambwe

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!