Ssemaka Ow’abakazi Abana Afumise Omugole Ekiso N’amuyisa Ebyenda Lwa Kumugattako

1 minute, 23 seconds Read

Waliwo Ssemaka ow’abakazi abana ebbuba gwe litembye ku jjoba n’akkira omugole n’amufumita ekiso mu lubuto n’amuyiwa ebyenda.

William Woira ne kabiitewe omugole nnamba nnya Petua Nabirye gw’abadde yaakamala naye ebbanga lya myaka ebiri nga batuuze ku kyalo Butale mu ggombolola y’e Bugulumbya mu disitulikiti y’e Kamuli be baddusiddwa mu ddwaliro lya Kamuli General Hospital nga biwala ttaka.

Omwogezi wa poliisi mu bbendobendo lya Busoga North, Micheal Kasadha ategeezezza nti babakubidde essimu nga babategeeza ng’omusajja bw’abadde afumbise mukaziwe ekiso oluvannyuma ne yetta.

Wabula Kasadha agambye nti bwe batuuse ku kyalo ewabadde obuzibu ne basanga ng’omusajja n’omukazi bonna bakyali balamu kwe kubayoolayoola ne babaddusa mu ddwaliro gye bali mu kufunira obujjanjabi.

Abatuuze bategeezezza nti Nabirye abadde asusse okujooga bba ng’afumba mu malya abiri nga ne kkulisimaasi teyagimufumbira ng’abaddenga amutegeeza nti agenze kusuubula.

Bano bagambye nti ku mulundi guno, Nabirye yava ewaka nga December 31 nga yakomyewo ggulo olwo ne batabuka ne balwana okukkakkana nga bamufumbise ekiso mu lubuto ebyenda ne biyiika.

Abamu ku baana b’omusajja be twogeddeko nabo okuli Peninah Babirye ne Goerge Woira omusango bagusalidde nnyaabwe omuto kiyite step mother gwe bagambye nti abadde asusse okubaliga.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Busoga North, Micheal Kasadha akakasizza ensonga zino kyokka n’alabula abafumbo okutwalira amateeka mu ngalo. Kasadha awabudde nti mu mbeera nga waliwo okusswagana, kya magezi omu ku bafumbo okwekubira enduulu ku poliisi.

Ababiri bano batuusiddwa mu ddwaliro e Kamuli nga bonna balina ebisago eby’amaanyi era mu kiseera kino abasawo bakola butaweera okulaba nga babataasa.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!