BYA TONNY EVANS NGABO | KYAGGWE TV | WAKISO | Bannamwandu mu disitulikiti y’e Wakiso balaze enyiike gye bayitamu olw’abantu naddala ab’enganda za babbaabwe ababakkakkanako ne babatulugunya omuli n’okubagoba mu maka gaabwe amangu ddala nga baakafiirwa babbaabwe. Bano bagamba nti oluusi n’abaana babeefuulira ne babagoba mu by’obugagga bye baba baakolera ne babbaabwe nga bakyali balamu […]