Bya Tonny Evans Ngabo Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu mu ggwanga ekakasizza nga bw’egenda okulowooza ku nsonga y’okwongera disitulikiti y’e Wakiso ensimbi okukira ku ndala olw’ekikula kyayo, emirimu egikolebwayo n’obungi bw’abantu abalimu. Kuno kwe kugattiddwa n’okukkiriza okusuumuusa eggombolola ya Wakiso Mumyuka etuuke ku mutendera gwa ttawuni kkanso. Kino kiddiridde ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr Matia […]
Bya Tony Evans Ngabo Abakulembeze abali ku mutendera ogw’eby’obufuzi mu disitulikiti y’e Wakiso si basanyufu olw’engeri amasomero gye galinnyisizzaamu ebisale n’ebulayo wadde omukulu mu minisitule y’eby’enjigiriza oba mu gavumenti avaayo okukuba ku nsolobotto ab’amasomero abagufudde omugano okukanda abazadde ensimbi nga balinga ze baabateresa. Bano nga bakulembeddwamu omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty […]

Bya Tonny Evans Ngabo Omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima baamuggye ku mudaala gw’abanoonya. Ono bba Ying. Tadeo Lugoloobi amukubye empeta wakati mu Lutikko e Lubaga mu kibuga kya Ssaabasajja Kabaka eky’e Kampala. Omubaka Naluyima ne bba Lugoloobi bakubye ebirayiro by’okwagalana okutuusa okufa lwe kulibaawukanya, okwagalana mu bwavu n’obugagga, […]