Omugenzi Godfrey Wayengera yatemuddwa mu bukambwe mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri lwa wiiki eno nga June 10 omulambo gwe ne gusuulibwa e Namubira okumpi n’oluguudo lw’eggaali y’omukka. Benjamin Gidudu mutabani wa Godfrey Wayengera eyattiddwa abazigu ab’emmundu abaabadde mu byambalo ebyefaananyiriza eby’amagye akaabizza abakungubazi bw’alemereddwa okwogera n’atulika butulisi n’akaaba. Gidudu abadde addiridde mukulu we, Elizabeth Wayengera […]