“Omulambo gwa Nakazibwa gwasangiddwa nga gutandise okuvunda kyokka ng’abatemu baamufunya nga bamusibye amagulu n’emikono ne bamuziika mu kinnya oluvannyuma lw’okumutta,” Mubiru bwe yategeezezza.
Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze bwe bafunye amawulire g’okuttibwa kwa mutuuze munnaabwe abadde omusuubuzi ng’ono yawambibwa abazigu gye buvuddeko ne batandika okukuba amasimu nga bakanda ab’enganda ze ensimbi akakadde kalamba.
Eby’embi, ensimbi zino zaabuze mu b’oluganda ne babasalirako ne babasaba emitwalo ataano nazo ne zibula ne babasindikira emitwalo etaano egy’abaggye mu mbeera ne basalawo okumutta.
Bino byabadde Buvuma mu bizinga ng’omusuubuzi eyattiddwa ye Kasifa Nakaziba (62) abadde asuubula emmere mu disitulikiti y’e Buvuma n’e Kiyindi mu disitulikiti y’e Buikwe.

Oluvannyuma lw’omu ku baana b’omugenzi, Abdallah Bogere nga mutabani w’omugenzi okwekubira enduulu ku poliisi, n’agitegeeza nga nnyina bwe yabadde awambiddwa abazigu abatannategeerekeka nga baabadde bali mu kukozesa ssimu ye okubasaba ensimbi obutamutta, poliisi yasitukiddemu n’ekola okunoonyereza okwayambye okuzuula omu ku bazigu. Oluvannyuma ono yayambye okukkakkana nga bakutte n’abalala babiri ku musango gwe gumu.
“Aba ffamire bwe baalemererwa okuweereza abazigu ensimbi akakadde akamu, baasalako ne basaba emitwalo 50, wabula nazo bwe zaagaana, baamalirizza nga babaweerezza emitwalo etaano. Zino zaasindikibwa ku nnamba eri mu mannya ga Annet Nabirye, era eno poliisi bwe yagirondodde, yasobodde okukwata Gadala eyabadde nayo n’ategeeza nti Nabirye muganziwe,” amyuka RDC Mubiru bwe yannyonnyodde.
Boogere yategeezezza poliisi nti eby’embi, ne bwe baaweerezza ensimbi emitwalo etaano, abazigu abaali bawambye nnyaabwe tebaasobola kumuta oba okubabuulira wa gye baali batadde omulambo, bwe kiba nga baali bamaze okumutta.

Oluvannyuma lw’okukwata Gadala, yategeeza poliisi nti yali akoze ne Samuel Ngobi ng’era Nakaziba baali baamutta nga May 20. Bano baakulembeddemu poliisi ne bagitwala gye baali baaziika Nakaziba mu nnimiro ya lumonde gwe babadde baakasima ku kyalo Lwazi mu ggombolola y’e Busamuzi.
“Omulambo gwa Nakazibwa gwasangiddwa nga gutandise okuvunda kyokka ng’abatemu baamufunya nga bamusibye amagulu n’emikono ne bamuziika mu kinnya oluvannyuma lw’okumutta,” Mubiru bwe yategeezezza.
Oluvannyuma lw’okuziikulayo omulambo, gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro lya Buvuma Health Centre IV abasawo okugwekebejja.
Gadala yategeezezza nti oluvannyuma lw’okuwamba Nakaziba, baamusanga n’ensimbi emitwalo ebiri gyokka ekyabanyiiza ne bamutta.
Minisita Muyingo Alabudde Okukangavvula Ab’amasomero Aganaajeemera Ebiragiro Ebyagateekeddwako
Kigambibwa nti era abazigu bano baategeezezza poliisi nga bwe baliko omusuubuzi gwe batta okusooka ne babeerako gye baamuziika nga poliisi egenda kulaba nga bayongera okugitegeeza ku bikwata kw’ono na wag ye baamuziika.
RDC asabye abatuuze abayinza okuba nga baliko omuntu waabwe eyabula okutegeeza poliisi ng’oba oly’awo era abazigu bano bayinza okuba bamanyi akakwate ne bababuulirizaako nga tebannatwalibwa mu kkooti kuvunaanibwa.
Wabula era asiimye poliisi y’e Buvuma olw’okwanguwa okukola okunoonyereza oluvannyuma lw’ab’oluganda lw’omugenzi okubategeeza ng’omuntu waabwe bwe yabadde awambiddwa nga kino kye kyayambye okukwata abatemu bano.