Abakulu B’ebika Mu Buganda Batuuse e Namibia Okulaba ku Mbeera Kabaka Gyalimu

“Ab’obusolya, bbo be Bwakabaka bwa Buganda, kiba kya bulyazamaanya, okubeera ng’abakozi b’Obwakabaka bwa Buganda be babuulira Obwakabaka bwa Buganda embeera Ssaabasajja Kabaka mw’ali. N’olw’ekyo tusazeewo ng’Abataka, okugenda e Namibia okulaba Kabaka waffe bw’afaanana,” Omutaka Mbirozankya. BYA KYAGGWE TV Wadde ng’olunaku lw’eggulo Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yalabiseeko eri Obuganda ng’asinziira e Namibia gy’ali […]

Ab’e Kyaggwe, Buddu ne Kyaddondo Bakiise Embuga, Oluwalo Lwa Bukadde 35 Lwe Lutikkuddwa

  | KYAGGWE TV | MMENGO | Abaganda baagera nti “akiika embuga amanya ensonga.” Na bwe kityo, Bannakyaggwe abasibuka mu ssaza ly’e Kyaggwe, Bannabuddu abava e Buddu ne Bannakyaddondwa ab’e Kyaddondo baakiise embuga ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda ku Bulange e Mmengo ne batwala oluwalo.  Bano bavuddemu omugatte gwa ssiringi za Uganda obukadde 35 […]

Minisita Wa Kabaka Alabudde Bannabyabufuzi Abasiga mu Bantu Obukyayi Okubakyayisa Obwakabaka

BYA TONNY EVANS NGABO Minisita avunanyizibwa ku nsonga z’amawulire n’okukunga era omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda Israel Kazibwe Kitooke alabudde bannabyabufuzi abagufudde omugano okubunyisa obubaka obusiga mu bantu ba Kabaka obukyayi n’ekigendererwa okubakyayisa Obwakabaka bwabwe. Minisita Kazibwe agambye nti ensangi zino, eriyo bannabyabufuzi abagufudde omugano okusiga amawulire ag’obulimba mu bantu ba Kabaka nga beerimbika nga bbo […]

Wuuno Omwana Ow’eby’ewuunyo, Ku Myaka 12 Azitowa Kkiro 172

Ebyewuunyisa nga bwe bitaggwa mu nsi, omwana Joel Mwanja Praise ow’emyaka 12 gyokka azitowa kkiro 172. Wadde bazadde be tebaasooka kutegeera buzibu mu bulamu bwe okuyimbulukuka mu ngeri etategeerekeka, bano oluvannyuma baakizuula nti buno bulwadde era bagamba embeera gy’ayitamu si nnungi. Fredrick Mawanda kkooki ayamba ku Mwanja okukola dduyiro agamba nti mu kiseera kino waliwo […]

Ebizuuse Kw’abadde Akulira Abakuumi ba Kabaka Eyadduse Bitiisa-Yatabuka ne Bakamaabe E Mmengo Okuva Kabaka lwe Yalwala

Oluvannyuma lw’okufulumya eggulire ely’okubulawo kw’abadde akulira abakuumi ba Kabaka, munamagye Capt. Edward Ssempijja, Olupapula lwa Bukedde lwongedde okuzuula bwiino akwata ku nsonga eno. Bukedde olwaleero olw’okutaano nga May 17, 2024 awandiise n’alaga nga Capt. Ssempijja bwe yalinnya ennyonyi nga mu kiseera kino ali Canada gy’ali mu kugoba ku mpapula ezimubeeza mu nsi eyo nga taliiko […]

Kabaka Ali Bweru Afuna Bujjanjabi-Katikkiro

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ategeezezza Obuganda nti Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ali bweru ggwanga gye yagenda okufuna obujjanjabi.  Katikkiro ategeezezza nti Nga March 21, 2024, Kabaka yagenda ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi wabula ng’embeera y’obulamu bwe tennamusobozesa kukomawo kuba abasawo be bakyetaaga okumwetegereza engeri omubiri gye gutambuliramu ku bujjanjabi obumuweebwa. Bino […]

Katikkiro Alambudde Ebitongole By’Obwakabaka N’akunga Abakozi ku Bwerufu

BYA BRENDA NANZIRI Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde ebitongole by’Obwakabaka ebikakkalabiza emirimu gyabyo ku kizimbe kya Muganzirwazza e Katwe mu kibuga Kabaka eky’e Kampala. Mu bitongole Katikkiro by’alambudde kuliko, Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd, K2 Telecom, Namulondo Investment Ltd, ne Mmwanyi Terimba Ltd. Okulambula kuno kugendereddwamu okumanya abakozi abaddukanya emirimu  gy’ebitongole bino, n’okwongera […]

Obwakabaka Bwa Buganda Bugulidde Essomero Entebe 100

“Okuddiza guba mwoyo, n’owuwo akumma.” Mu mbeera eyo, Obwakabaka bwa Buganda buddizza ku bantu ba Nniyimu, abayizi mu ssomero lya Bbowa Vocational Secondary School bwe buwaddeyo entebe abayizi kwe batuula 100 okubasobozesa okusomera mu mbeera ennungi nga yeeyagaza. Enteekateeka eno eri mu kaweefube w’okusitula omutindo gw’eby’enjigiriza mu nsi ya bwoobwe Buganda. Bwe yabadde awaayo entebe […]

Tekigasa Kuwangaala Ku Nsi Bbanga Ddene Nga Togasa-Katikkiro

“Okuwangaala emyaka emingi tekigasa nga tolina kyamakulu ky’okola mu bulamu, kye kiseera buli muntu omulamu olwaleero obeereko ky’okola ekiyamba ensi naawe ng’omuntu ssaako abakwetoolodde,” ebyo bye byabadde ebigambo bya Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga. Okwogera bino, Katikkiro yabadde mu kusabira omugenzi Zebib Solomon Kavuma, abadde mukyala wa Paul Robert Kavuma mutabani w’omugenzi Owek: Godfrey […]

error: Content is protected !!