Ekisaawe ky’abayimbi ba ‘band’ mu Uganda baguddemu encukwe bwe bafunye amawulire g’okufa kw’omu ku munnaabwe eyafudde mu kiro ekikeesezza olwa leero. Kigambibwa nti Daudi Mugema yafiiridde mu wooteeri e Gulu gye yabadde agenze okusisinkana Gen. Salim Saleh okumusaba obuyambi bw’obujjanjabi olw’obulwadde obumaze ebbanga nga bumubala embiriizi. Gye buvuddeko, Mugema yavaayo n’ategeeza ensi nga bwe yalina […]