
Ekisaawe ky’abayimbi ba ‘band’ mu Uganda baguddemu encukwe bwe bafunye amawulire g’okufa kw’omu ku munnaabwe eyafudde mu kiro ekikeesezza olwa leero.
Kigambibwa nti Daudi Mugema yafiiridde mu wooteeri e Gulu gye yabadde agenze okusisinkana Gen. Salim Saleh okumusaba obuyambi bw’obujjanjabi olw’obulwadde obumaze ebbanga nga bumubala embiriizi.
Gye buvuddeko, Mugema yavaayo n’ategeeza ensi nga bwe yalina olumbe olwali lumuluma nga lwali lumuzimbizza okugulu ng’era ensi yamukwasizaako n’afuna ensimbi ezaamuyamba okugenda ebweru okujjanjabibwa.
Daudi Mugema yamanyika nnyo olw’oluyimba lwe ‘Katonda w’Abanaku teyeebaka’.