Chris Jamo, anyumya engeri David Lutalo ne Maro bwe baamubbako oluyimba

Mu mboozi n’omuytimbi Chris Jamo ekitundu eky’okubiri, ku Kyaggwe TV, omukutu oguli ku YouTube, mu program Art Talks, ono anyumya obulamu bwe obw’okuyimba omuli ensonga ez’enjawulo. Anyumya lwe yanywa ku njaga, ng’engeri gye yamuyisaamu, olwo lwe lwasooka era lwe lwasembayo. Ono era anyumya bwe yayimba oluyimba lwa Tonoba na byange, omuyimbi David Lutalo ne yeegatta […]

Ekyabadde mu kivvulu kya David Lutalo mu bifaananyi 47

Omuyimbi w’ennyimba z’omukwano yajjuzza Colline Hotel e Mukono ku Lwomukaaga mu kivvulu kye yatuumye Nalongo concert. Biibino ebifaananyi 35 eby’enjawulo ebyabadde mu kivvulu kino. Lutalo yawerekeddwako abayimbi bangi ate ab’amaanyi omuli Mesach Ssemakula, Spice Diana, Betty Mpologoma, Coco Finger, Kapa Cat, Haruna Mubiru n’abalala bangi. David Lutalo Alaze Bw’asajjakudde, Ky’akoze e Mukono Kika!  

David Lutalo Alaze Bw’asajjakudde, Ky’akoze e Mukono Kika!

Omuyimbi w’ennyimba z’omukwano David Lutalo ayongedde okweraga eryanyi oluvannyuma lw’okukuba Cricket Oval e Lugogo n’agifukamiza ate n’alumba n’e Mukono ku Colline Hotel n’akola kye kimu. Wadde Lutalo tali mu bayimbi abeesoma nga bwe bali ab’amaanyi era abeepikira ono oba oli mu battle, engeri gy’ayimba, ennyimba ze kumpi ezisoba mu 100, engeri buli luyimba gye lulinamu […]

error: Content is protected !!