Dr. Crispus Nkoyoyo, nga y’amyuka akulira eddwaliro lino yannyonnyodde nti nabo ng’abasawo kibakosa okulaba ng’abantu ababa bavudde mu bulamu bw’ensi, tebalina kifo kitongole we bayinza kubatereka. Abatuuze, abakulembeze n’abasawo mu bizinga by’e Buvuma bavuddeyo ne balaga obutali bumativu olwa gavumenti okulemererwa okubazimbira eggwanika ku ddwaliro eddene lyokka lye balina mu disitulikiti erya Buvuma Health Centre […]