Nga tusemberedde okutuuka ku mazaalibwa g’Omulokozi Yezu Kristo wamu n’ebikujjuko ebiggalawo omwaka, ab’eby’obulamu mu disitulikiti y’e Wakiso balabudde Bannayuganda nga bwe beetegekera ebikujjuko bino, okubeera obwelinde ku nsonga y’ekirwadde kya MPOX eky’eyongedde okuwanika amatanga. Abasawo bagamba nti mu kiseera kino, abantu abakunukkiriza mu lukumi (1000) be baakakwatibwa ekirwadde kino mu Uganda yonna nga mu disitulikiti […]