Omubaka wa gavumenti atuula mu disitulikiti y’e Buvuma Jacqueline Birungi Kobusingye asimattuse akabenje. Okusinziira ku beerabideko n’agaabwe, RDC Birungi abadde ava ku woofiisi ye esangibwa e Kitamiiro ng’ayolekedde e Kirongo ku mwalo okulinnya ekidyeri okuva e Buvuma. Amyuka RDC w’e Buvuma Patrick Mubiru akakasizza nga ddala mukamaawe bw’asimattuse akabenje kano nga kagudde ku kyalo Busamuzi mu […]
Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Buvuma (RDC), Jackeline Kobusingye Birungi ng’ali wamu n’aduumira poliisi mu bizinga by’e Buvuma Micheal Bagoole balabudde okuggalira n’okukangavvula abantu bonna abaneekiika mu nteekateeka ya gavumenti ey’okugema omusujja gw’enkaka. Okugema omusujja gw’enkaka (Yellow Fever) kwatandise ku Lwokubiri nga April 2 nga kugenda kutambula okutuuka nga April 8, nga kutambudde mu […]