Owek. Noah Kiyimba akubirizza abavubuka obutatya bufumbo ng’annyonnyola nti newankubadde wabaawo ebisoomooza mu bufumbo, bwe wabaawo omukwano omuggumivu wakati w’abagalana ebisigadde efuuka mboozi etayinza kulemesa baagalana. Minisita Kiyimba okwogera bino yabadde akiikiridde Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’abasirikale mu ggye erikuuma Kabaka erya Kabaka Protection Unit (KPU), Kafeero David ne Namutebi […]
Embeera ya bunkenke ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda e Mmengo! Akasattiro kano kazzeewo oluvannyuma lw’okukizuula nti munnamagye Capt. Edward Ssempijja nnamba RO/13048, abadde akulira eby’okwerinda bya Kabaka yasuulawo dda omuli n’adduka nga ne bakamaabe tebamanyi. Bino oluvannyuma lw’okubeerawo, omwogezi w’amagye ga UPDF, Brig. Gen. Felix Kulayigye ategeezezza nti Capt. Ssempijja nabo tebamnyi mayitire ge […]