Bya Lilian Nalubega
Mengo ezzeemu okuyungula abakungu baayo okuddayo ku butaka bw’ekika ky’e Mpologoma mu kaweefube gw’eriko okutaawulula enkaayana eziriwo ku ttaka ly’obutaka bw’ekika kino ne munnamagye eyawummula Gen. Elly Kayanja.
Ttiimu yakulembeddwa Minisita w’eby’obuwangwa, embiri, amasiro n’eby’okwerinda e Mmengo, Anthony Wamala, Ssaabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika, minisita w’olukiiko, kabineeti, abagenyi ne w’ofiisi ya Katikkiro e Mmengo Noah Kiyimba, n’abakungu okuva mu kitongole kya Kabaka eky’eby’ettaka ki Buganda Land Board.
Olw’obukulu bw’ensonga eno, n’abataka abakulu b’ebika eby’enjawulo tebaalutumiddwa mwana, nga ku bano kuliko; Omutaka Aloysius Lubega Magandaazi Nsamba omukulu ‘ekika ky’e Ngabi, Omutaka Kayiira Gajuule omukulu w’ekika ky’e Mbogo, omutaka Mbugeramula Atanansio Kyaddondo omukulu w’ekika Ky’e Nvuma, Omutaka Sam Walugembe Ssaababiito e Kibulala n’abalala.
Bano baatandikidde mu kigango Kya Kabaka Kintu mwe yatuulizanga enkiiko nga wano omutaka Kyaddondo we yasinzidde n’ategeeza nti “ffe ekyatuleese kwe kulaba nga Buganda Land Board (BLB) ekwasa ab’e Mpologoma ekyapa ky’ettaka lyabwe kubanga bakibanjirizza ebbanga ddene ate nga kyabwe!”
Yennyamidde olw’ebika ebirina ettaka erimanyiddwa obulungi we liri okuba nga bikaaba bukaabi okufuna ebyapa byabyo okuva mu Buganda Land Board n’ategeeza nti oba nga bbyo biyisiddwa bityo olwo ebika ebirala ebitudde ku ttaka ly’abantu obuntu binayambibwa bitya?
“Ab’e Mpologoma mubawe obuyinza bwabwe ku ttaka kubanga balina obusobozi okulirabirira n’abapangisa baabwe” bwe yakkaatirizza.
Omutaka Kayiira Gajuule ye yasinzidde wano n’ategeeza nti mu kiseera nga ye Mukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Kabaka yamulagira n’abantu abatono okunoonyereza ku nsonga y’emu e Lwadda era nti bye baazuula baabimuwa n’alagira Omutaka Namuguzi aweebwe ekyapa ky’ettaka kubanga kimu ku biri mu Buganda Land Board nti wabula kibeewunyisa okuba nga n’okutuusa kati ekiragiro tekissibwanga mu nkola.
Omutaka Kayiira yategeezezza nti, kibi nnyo okuba nga ennono etyoboddwa abantu bennyini abandibadde bagitumbula ate nga beebagidibaga n’abalala ne bagoberera ekitali kituufu.
“Tewali ngeri gye tuyinza kutwala Buganda ku ntikko ng’ennono tugirengezza n’okugiyisaamu amaaso. Oba nga Keeya Namuyimba Muteesaasira ye Kiweewa wa Kabaka Kintu omuberyeberye kyokka nga talina butaka, kitegeeza alagajjaliddwa tafiiriddwako! Obuganda bunaagenda butya mu maaso nga Ssebuganda naye ali mu maziga! Kimanyiddwa nti emyaka kumpi gisoba ne mu 900 nga Abazungu tebannaggya kuno, Ssebuganda yali ku Lwadda ate lwaki tunoonya nannyini kifo kye kimu!” Omutaka Kayiira bwe yagambye n’ategeeza nti ekibi abantu batyobodde nnyo ennono.
“Olaba nange kati amaanyi gange gankendeerako kubanga buli lwenvaayo mu kitiibwa kyange nga akulira Amayembe wonna mu Buganda ne njogera ate bensuubira nti bandibadde bategeera, tebabitegeera. Abantu bayitirizza okunyooma era nze ekyo kinnafuyizza nnyo ekisusse” Kayiira bwe yakkaatirizza.
Minisita Noah Kiyimba era nga naye mmemba ku lukiiko olulabirira eby’obugagga by’ekika ky’e Mpologoma yagambye nti ssikweya mayiro eyogerwako ey’ekika kyabwe emanyiddwako embuga z’ebyobuwangwa eziwerera ddala nga tewali ayinza kutegeera bukulu bwazo na gye zisangibwa okujjako nga alirambudde eta ne yeebaza abakungu ba Mmengo okusitukiramu.
Ye Katikkiro w’ekika ky’e Mpologoma Omutaka Kisekka Ddungu yaloopedde Minisita engeri Munnamagye eyawummula Gen. Elly Kayanja gy’abatulugunyizzaamu n’atuuka n’okusamba emmere gye bafumba ekintu ekitassa kitiibwa mu bannyini ttaka.
“Wano ggyo ly’abalamu azze alagira basajja be nga n’abamu bali ku ttaka lino ne bakuula ebitooke bye tubadde tusimba ebisoba mu 1,500 kyokka nga akimanyi bulungi nti liizi gyeyali yqfuna ku ttqkq lino okuva mu Uganda Land commission yaggwako dda. Nga ffe ba nnannyini ttaka tumanyi nti obuyinza buba eri ffe okukkiriza okumuwa liizi endala oba nedda naye ye awa b’amateeka nti y’aba atugabirako ku yiika z’alina. Twagala amateeka ga liizi gagobererwe kubanga tukimanyi bulungi nti ne liizi ggye yalimu yali ya kulundira ku ttaka naye kati atunda zi poloti n’abantu bazimbye ekitali kituufu era ekimenya amateeka.
Yanokoddeyo ezimu ku mbuga ez’eby’obuwangwa eziri ku mayilo eno okuli;
Ennyumba Mukungaanya Kabaka Kintu mwe yagattira ebika ebyaliwo mu kiseera ekyo era nga buli kika kw’ebyo kirina embuga yakyo ku lusozi Lwadda.
Muzzukulu wa Kabaka Kintu ng’ono ye Kireega bwe yamuleegera Mujaguzo nga azadde abalongo yakuba embuga y’eddeegero lye eryasooka kuno n’amuwa omutala Kasalirwe era n’amusimbira n’omutuba ogwa Mululu Kireega Kasumba ogw’essiga kyokkaa nalyo lyayokebwa nga tulowooza nti bannaffe abeegwanyiza ekifo kino baali mu lukwe ne lisaanawo kyokka nga ekifo kyalyo kikyaliwo era kimanyiddwa!
Wano weewasinziira obwa Kireega omuleezi omukulu ow’engoma z’obwa Kabaka Mujaguzo. Kuno kuliko embuga y’ow’essiga Ssegaamwenge e Nampiima, ow’essiga Wassago e Lwadda, Embuga y’essiga Kiroomu e Katalemwa. Waliwo enzizi ez’ensonga; Olwa Nnaalongo Nnazibanja ku ssomero lya C/U, Nnaalongo e Katalemwa , Nnaalongo Nampiima okumpi n’ewa Ssebuganda, Nnaalongo Nakibuule ku Lusozi n’enzizi endala. Zino zonna zirina ensonga ezikwata obutereevu ku bwa Kabaka era abavunaanyizibwa okuzinonako amazzi okugatwala embuga baganonayo. Asookera ddala ye Kayiira ow’e Mbogo n’abalala.
Amaka g’omutaka omukulu ow’ekika kino gasangibwa kuno. Ekifo awatikkitirwa Nnamuguzi omukulu ow’ekika kino kiri kuno, Ekifo awakebererwa obutonde (okwalula abaana), Omuggo Luwaga ogwakuba empologoma era gwetumanyi nti gwe gwawa jjajjaffe obuwanguzi n’okufuna omuziro.
Ebifo byaffe eby’ennono eby’enjawulo ebyalimu enzimba ez’enjawulo ebyandibadde bizzibwawo kyokka nga bikyalemeseddwa olw’embeera eno kwebiri nabyo bingi.” Kisekka bwe yannyonnyodde mu bulambulukufu.
Yayongeddeko nti Kabaka enfunda nnyingi azze alagira ekyapa ky’ettaka lyabwe kibaweebwe nti kyokka BLB ekyakiremedde awatali kubawa nsonga ya ssimba kyokka nge y’emu egabidde abantu ebyapa mu ngalo ku ttaka lyabwe.
SSAABAWOLEREZA WA BUGANDA AWABUDDE
Ssaabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika yeebazizza ab’ekika ky’e Mpologoma olw’okuba abamalirivu era abalemedde ku nsonga ey’okubanja ekyapa kyabwe nga baluubirira okufuna obwenkanya ku ttaka lyabwe.
Yagambye nti ebyafaayo byoleka bulungi nti ettaka omutaka Ssebuganda ne bazzukulube lye balwanirira lya kika kya Mpologoma n’olw’ekyo ba ddembe okusooka okumaamira buli awasoboka nga bwe baluubirira okulwanira erikyamaamiddwa.
Bwanaika yanokoddeyo n’akawaayiro mu ssemateeka nti “ekifo ekiriko ebyafaayo eby’obuwangwa n’ennono nga biweza ebbanga, oyo alina obukakafu nga bibye afuna ekyapa ku ttaka we biri. Kino kiwa enkizo ab’e Mpologoma nabo okufuna ekyapa ku ttaka kwe bali kubanga eby’obuwangwa bwabwe bingi ebiri ku ttaka lino.
Wabula ate era ono yabawadde Magezi nti bwe kiba kisoboka ettaka lyabwe linunulwe mu bitundutundu. Yeeyamye nti nga bwe yatandika ku nsonga zino era nti ayagala okulaba nga ziggwa.
Minisita w’ebyobuwangwa e Mmengo Anthony Wamala ayagala kukkaanya;
Owek. Wamala yagambye nti kyewuunyisa okulaba ng’ekintu ekibagulumbya emitwe kirabwa n’omuto kyokka nga kiremye bonna okumaliriza. Yategeezezza nti ensi w’etuuse omuntu aleka okukola ekituufu n’akola ekisaanidde era n’awa ab’e Mpologoma amagezi okukkiriza bave ku kituufu bakole ebyo ebinanyweza eddembe lyabwe ely’omumaaso. Ono era yabasabye bakkirize okuteesa ne munnamagye Elly Kayanja n’abo abakwatibwako ensonga buli kimu kiggwere mu kuteesa.
Prof. Hajji Badru Kateregga alabudde
Prof. Kateregga nga ye Ssentebe w’abazzukulu mu kika ky’e Mpologoma era nga ye ssentebe w’olukiiko oluvunaanyizibwa ku by’obugagga by’ekika yagambye nti “Nga tuyayaanira okufuna obwenkanya ku mayiro y’ettaka ly’ekika kyaffe gye tumanyi obulungi nti tusobola okugiddukanya ssinga tukwasibwa ekyapa kyaffe, twagala naffe okulabula nti nga mututwala mu kuteesa ate tetwagala kutiisibwatiisibwa bannamagye.
Olw’okuba balina emmundu tebalowooza nti baggya kuzikozesa okutunyigiriza era twagala mumanye nti okuteesa kulina kuba kwa bwenkanya. Mumanye nti naffe tulina obusobozi okugaba liizi ne tuzirondoola. Twagala kulaba nga mutukwasa ekyapa kyaffe tusse mu nkola ppulaani naffe ze tulina ng’ekika.”
Okulambula kwatutte kumpi olunaku lulamba nga ebimu ku bya zuuliddwa biraga nti abasenze bangi beeyongedde ku ttaka lino nga kiteeberezebwa nti BLB y’ebawa ebbaluwa z’obusenze ne benywereza ku ttaka n’abalala nga baaguzibwa munnamagye Elly Kayanja ne banne.
Enzizi ez’ennono ku ttaka lino ezimu zakyusiddwa ne zafuulibwa bidiba bya by’ennyanja n’endala zaazimbibwa kati zikimwako mazzi ga midumu, sso ng’endala zaasibibwa mu bibanja by’abasenze abamu tezikyatuukikako.
Yo liizi ya Gen Kayanja yaggwako dda nga kati ali mu nteeseganya ne Buganda Land Board gy’ayagala emwongere endala kyokka nga era takkiriza kuva ku ttaka lino.
Ba minisita baatuuse ku mbuga z’amasiga eziri kuno olw’obudde ate nga n’olugendo baatambudde luwanvu ddala ekyawalirizza n’abamu bakira okulinnya zi bodaboda basobole okumalako.
Ye Omutaka Wilson Ndawula Ssebuganda Nnamuguzi mu kiseera kino nga mukadde nnyo bw’atuukiriddwa agambye nti ayagala Bwenkanya Mmengo ebawe ekyapa ky’ettaka ly’ekika nti ssinga kikolebwa aggya kuba akoleredde ekika kye ebyo bye kyetaaga ku lw’abazzukulu abaliddawo.
Kinajjukirwa nti Ssaabasajja yaakaweereza ebibinja by’abakungu okuva e Mmengo guno omulundi gwa kuna nga yasooka kuweereza omutaka Kayiira ng’akyali mukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, yazzaako ow’ekitiibwa omugenzi kati Yusuf Wamala Ggaganga we yabeerera minisita w’eby’obuwangwa n’ennono e Mengo. Yazzaako ow’ekitiibwa David Kyewalabye Male kati addiriddwa ow’ekitiibwa Anthony Wamala nga bonna ba minisita ba byabuwabgwa n’ennono e Mmengo.