BYA TONNY EVANS NGABO |KAGOMA | KYAGGWE TV | Abantu abawerako basimattuse okufa, ekimotoka ky’amagye bwe kyalemeredde omugoba waakyo ne kiyingirira ekizimbe okuli bbizinensi ez’enjawulo. Akabenje kano kaaguddewo ku Lwokubiri mu kabuga k’e Kagoma ku luguudo olugenda e Bombo mu disitulikiti y’e Wakiso, okuliraana essundiro ly’amafuta erya Be Energy Petrol Station. Emmotoka y’eggye lya UPDF […]
Abatuuze ku kyalo Kalagala mu ggombolola y’e Ngogwe mu disitulikiti y’e Buikwe baguddemu encukwe, emmotoka ebadde ewenyuka obuweewo bw’eremeredde omugoba waayo ne yeerindiggula ennume y’ekigwo okukkakkana ng’abantu bataano bafu. Akabenje kano kagudde ku luguudo oluva e Nkokonjeru okudda e Nyenga. Abeerabiddeko n’agaabwe bategeezezza Kyaggwe TV nti abantu bana Ku munaana ababadde mu mmotoka eno bafiiriddewo […]