Kitalo! Eyali Omwami wa Kabaka Ow’essaza Ly’e Kyaddondo Afudde!!!

  Eyali omwami wa Kabaka ow’essaza ly’e Kyaddondo, Kaggo Tofiri Malokweza Kivumbi afudde. Kaggo abadde mutuuze ku kyalo ky’e Nabweru. Amawulire g’okufa kw’eyali Kaggo gasaasaanyiziddwa meeya w’e Kawempe, Emmanuel Sserunjoji Oweddembe. Kaggo Tofiri afiiridde ku myaka 96. Ono yali musirikale wa Paapa mu Eklezia Katolika. Ssaabasajja Kabaka yasiima n’amuwa ejjinja ery’omuwendo ng’olw’obuweereza bwe obulungi eri Obwakabaka […]

Omwami W’essaza Kaggo Alabudde Abazadde Okufaayo ennyo ku Baana

Bya Tonny Evans Ngabo Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaddondo, Kaggo Ssalongo Matovu Ahmed Magandaazi alabudde abazadde ku nkuza y’abaana gy’agamba nti y’ensibo y’ebizubu ebifumbekedde mu ggwanga. Kaggo okwogera bino yasinzidde Kirinya mu ggombolola ya Ssaabaddu-Kira bwe yabadde akulembeddemu emikolo gy’okutuuza omwami w’omuluka gwa Ssaaabagabo-Kirinya, Ssalongo David Ssekalega Ziriddamu n’asaba abazadde okukozesa ekiseera ky’oluwummula […]

error: Content is protected !!