Abazadde Mukulize Abaana Mu Katonda

Ekkanisa ya Uganda ekkuziza olunaku kabaka Herode lwe yattirako abaana nga luno lukuzibwa nga buli ennaku z’omwezi 28 December. Mu kusaba, abazadde basabiddwa okuteeka essuubi mu baana baabwe baleme okugujuubanira ebintu by’ensi ne bava ku katonda.

Rev. Ssalongo James Lubega Musisi omusumba w’obusumba bw’e Bbira mu busaabadinkoni bw’e Nateete mu bulabirizi bw’e Namirembe asinzidde mu kusaba kw’okujjukira olunaku luno mw’abatirizza n’abaana, n’asaba bazadde okwongera amaanyi mu kukuliza abaana baabwe mu kutya Katonda okusinga okubaleka ne bagobagana n’ebintu by’ensi.

Rev. Lubega mu ngeri y’emu ayambalidde abakulembeze olw’okukozesa obubi obuyinza Katonda bw’abeera abawedde ne batuuka  n’okutulugunya abalala olw’okuba balina amaanyi g’emmundu.

Ate ye Elly Kasirye, omuwanika w’obusumba buno obw’e Bbira era nga ye ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso naye asinzidde wano mu kubatiza abaana be n’asaba abakulembeze okutwala eky’okulabirako ekya Yesu Kristo nga bakulembeza omuntu wa wansi mu buwereza bwe bakola eri Bannayuganda.

Mu ngeri y’emu munnamateeka w’ekibiina kya NUP, George Musisi asiimye bannaddini okuvaangayo ne bakangula ku ddoboozi eri ensonga ezinyigiriza abantu.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!