Abasuubuzi abakolera mu katale k’e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso ababadde bamaze ebanga erisoba mu myaka ebiri bukyanga akatale kano kookebwa omuliro bafunye ku kaseko ku matama bwe kazzeemu okuggulwawo. Bano bagamba nti balina essuubi nti bagenda kufuna ku nsimbi mu ssizoni y’ennaku enkulu eyatandise edda oluvannyuma lwa ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia […]