Katikkiro akubirizza abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna okugoberera ennambika ezibaweebwa gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka mu byonna bye bakola nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa. Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga alambise abaami b’Amasaza ag’enjawulo mu Buganda okwewala okuteekesa mu nkola ebirowoozo byabwe wabula bagoberere ennambika ebaweebwa okuva embuga enkulu mu Bwakabaka. “Ebirowoozo tulina bingi, naye buli […]
Obwakabaka bwa Buganda buguddemu encukwe oluvannyuma lw’okuseerera kw’omulangira Daudi Golooba ng’ono y’omu ku baana ba Ssekabaka Edward Muteesa II. Omulangira Golooba Omutonzi amujjululidde mu ddwaliro lya St. Francis e Nsambya olwa leero nga February 23, 2025. Amawulire g’okuseerera kw’Omulangira gategeezeddwa Obuganda okuva wa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ng’ayita ku mikutu gi mugatta bantu. […]
Oluvannyuma lwa palamenti okuyisa ng’eggyawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulungamya omutindo gw’emmwanyi ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) nga kigattibwa ku minisitule y’eby’obulimi, obwakabaka bwa Buganda bubuddeyo ne bulaga okunyolwa olw’ensonga eno. Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde eky’okuggyawo ekitongole ky’emmwanyi ki UCDA ekyayisiddwa Palamenti olunaku lw’eggulo n’ategeeza nti tewali kubuusabuusa ekyakoleddwa kyakoleddwa kubonereza Baganda. Mu […]
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze abantu mu Buganda okunnyikiza empisa y’okwabya ennyimbe n’okugoberera obulombolombo obugendera ku mukolo ogwo. Kamalabyonna agamba nti okwabya olumbe mukolo muzzaŋŋanda era gwa ssanyu kubanga guyamba abantu okuddamu okusisinkana, okumanyagana n’okwezza obuggya oluvannyuma lw’okuviibwako omuntu waabwe. Mukuumaddamula era avumiridde eky’abantu obazze badibya empisa eno nga bagiyita eya sitaani, n’agamba […]
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga alungamizza ku muti gw’omuwafu ogugambibwa okuba ogw’ebyafaayo ogubadde ku yunivasite y’e Kyambogo nga guno kibuyaga yagusudde. Katikkiro asabye Ssettendekero wa Kyambogo okusimba omuti omuggya gudde mu kifo ky’omgwo omukadde ogwagudde. Okusaba kuno Katikkiro akuyisizza mu kiwandiiko ky’awandiise ekiraga ebyafaayo by’omuti guno n’amakulu g’ekifo we gwasimbibwa. Mukuumaddamula agambye nti omuti […]