Yunivasite y’e Makerere ng’ekolera wamu n’Obwakabaka bwa Buganda ezimbye ekkaddiyizo lya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II nga lituumiddwa Sir Edward Muteesa II Museum.
Ekkaddiyizo lino ligguddwawo Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga olwa leero ku Ssetendekero wa ono mu kibuga Kampala.
Ekifo ewateereddwa ekkadiyizo lino, Ssekabaka Muteesa II mwe yasulanga mu biseera we yasomera e Makerere, era ekifo kino kya nkizo nnyo eri Buganda, Uganda ate ne Makerere University.
Abaana ba Muteesa II era bawaddeyo ebifaananyi eby’enjawulo ebiraga ebiseera eby’enjawulo Muteesa II we yabeerera e Makerere.
Mu biweereddwayo kuliko Ssekabaka Muteesa II nga yeetaba mu by’emizannyo ky’enkana ebya buli kika, omuli, okusamba omupiira, cricket, Golf, nga ali wamu n’eyali Kyabazinga wa Busoga Henry Wako Muloki, n’abalala.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda bwa kwongera okuwagira enkulaakulana y’ekifo kino.