Okutuuza Ssekiboobo e Kyaggwe: Ababaka ba Palamenti Ab’e Kyaggwe Baweze Okufa N’obutanyagwa ku Nsonga ya UCDA

Munnabyanjigiriza e Mukono n’emiriraano, Vincent Matovu Bintubizibu atuuziddwa nga Ssekibooboi ku mukolo amatendo ogubadde ku kitebe ky’essaza ly’e Kyaggwe mu Ggulu e Mukono. Omukolo gw’okutuuza Ssekiboobo n’abamyukabe ku lwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga gukoleddwa Minista wa Buganda ow’abavubuka, emizannyo n’ebitone Ssalongo Robert Sserwanga ne Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki. Ssekiboobo akoze emikolo gy’eby’obuwangwa […]

Kyaggwe Awuumye nga Ssekiboobo Vincent Matovu N’abamyukabe Batuuzibwa

Omwami wa Kabaka omuggya atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu n’abamyukabe okuli omumyuka asooka Moses Ssenyongo Kiyimba, n’ow’okubiri Fred Katende Kangavve batuuziddwa mu kitiibwa, ng’abakulembeze ab’essaza ly’e Kyaggwe. Omukolo gw’okutuuza Ssekiboobo gukuliddwamu Minisita wa Kabaka ow’abavubuka n’eby’emizannyo Robert Sserwanga ne Minisita wa gavumenti ez’ebitundu e Mengo, Joseph Kawuki sso nga ne ba Minisita ba […]

Kyaggwe Ya Kuttunka na Buddu ku Ffayinolo Z’amasaza e Namboole

Ffayinolo y’omupiira gw’amasaza 2024 yakunyumira abalabi e Namboole nga batabani ba Ssekiboobo ab’essaza Kyaggwe battunka n’aba Ppookino ab’essaza ly’e Buddu. Bannakyaggwe bawera nkolokooti nti Buddu bukyanga erya myungu, leero eridde butanga, anti mbu Katonda waabwe abavuddemu, katisa abasudde ku Bakunja, eby’okubala ekikopo eky’okuna kye kiseera babifuuwe ku nninga kuba bbo luutu eno ne Katonda waabwe […]

Okufa Kwomukulu W’ekika Ky’e Kiwere – Bamwogeddeko Birungi Byereere

Oluvannyuma lw’okumala ku nsi ennaku 12 okuva lwe yaseerera (okufa) nga September 12, 2024, Omutaka w’ekika ky’e Kiwere, James Luwonko Mbale Zamuwanga, enteekateeka z’okutereka enjole ye zitandikiddwako. Enteekateeka zino zikulembeddwamu Katikkiro w’ekika Apollo Kyazze Mbale, ng’ono ategeezezza nti naye obukulu buno yakabumalako ennaku 12 zokka, ng’ekiraamo ky’omugenzi kye kyamuwadde ekitiibwa kino okusobola okutambuza ekika n’okukumaakuma […]

Buddu Eyongedde Okuvuya mu Gy’amasaza-Bugerere Eginyiyizza Endiba

Amasaza ag’enjawulo gakyagenda mu maaso n’okweriisa enkuuli mu mupiira gw’amasaza 2024 sso ng’ate n’ezikyavuya nazo nnyingi. Erimu ku gakyavuya y’e ttiimu y’essaza ly’e Buddu ng’eno ne gye buli eno ekyavuya. Bannabuddu bakubiddwa essaza ly’e Bugerere ku ggoolo 1-0 nga babadde ku bugenyi. Ng’eno ssande ya kusatu bukyanga empaka z’omwaka guno ziggyibwako akawuuwo, ne bannantameggwa b’ekikopo […]

Omuwagizi W’essaza Ly’e Kyaggwe Omulala Afudde!

| MUKONO | KYAGGWE TV | Nga Bannakyaggwe bakyakungubagira abawagizi ba ttiimu y’omupiira ey’essaza ababiri abafiira mu kabenje akaagwa ku Ssande e Butambala, ate omu ku babadde ku bitanda nga bataawa afudde. Afudde ye Mulwana abasinga gwe babadde bamanyi nga Musiraamu ng’ono abadde avuga bodaboda ku siteegi ya Sombe mu kibuga Mukono wakati. Abawagizi abasooka […]

Kitalo! Abawagizi ba Ttiimi Y’essaza Kyaggwe Bafiiridde mu Kabenje Nga Bava e Gomba

| KYAGGWE TV | BUTAMBALA | Ekikangabwa kigudde mu bawagizi ba ttiimu y’essaza ly’e Kyaggwe bwe bagudde ku kabenje nga bava e Gomba okusamba omupiira gw’amasaza. Okusinziira ku Christopher Sseruyange, ow’amawulire wa ttiimu y’essaza ly’e Kyaggwe nga y’omu ku bali mu ddwaliro e Gombe abawagizi bano gye baddusiddwa oluvannyuma lw’okufuna akabenje, abawagizi abawerako ng’omuwendo gwabwe […]

Ab’e Kyaggwe, Buddu ne Kyaddondo Bakiise Embuga, Oluwalo Lwa Bukadde 35 Lwe Lutikkuddwa

  | KYAGGWE TV | MMENGO | Abaganda baagera nti “akiika embuga amanya ensonga.” Na bwe kityo, Bannakyaggwe abasibuka mu ssaza ly’e Kyaggwe, Bannabuddu abava e Buddu ne Bannakyaddondwa ab’e Kyaddondo baakiise embuga ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda ku Bulange e Mmengo ne batwala oluwalo.  Bano bavuddemu omugatte gwa ssiringi za Uganda obukadde 35 […]

Essaza Ly’e Kyaggwe Liyungudde Ttiimu Kabiriiti mu Z’amasaza

AGAFA MU NKAMBI Y’ESSAZA LY’E KYAGGWE – THE BUKUNJA WARRIORS Essaza ly’e Kyaggwe limaze okuyungula ttiimu kabiriiti okwanganga amasaza amalala mu mpaka z’omupiira ogw’amasaza ezinaatera okuggyibwako akawuuwo. Mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri, abazannyi ba ttiimu eno amanyiddwa nga Bukunja Warriors abazannyi baayo bonna baatadde omukono ku ndagaano ezigenda okubafuga mu mpaka zino ssizoni eno. Ebitonotono […]

Kitalo! Munnabyanjigiriza Matovu Kyagambiddwa Afudde

Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa olweggulo lwa Mmande bwe baafunye amawulire g’okufa kwa munnabyanjigiriza eyawummula Matovu Kyagambiddwa.  Kyaggwe TV ekitegeddeko nti Kyagambiddwa we bamutuusirizza mu ddwaliro lya Mukono General Hospital abasawo bategeezezza abamututteyo nti abadde yassizza dda ogw’enkomerero. Wabula abamututteyo tebakkaanyizza na bigambo bya basawo era bakkaanyizza ne bamwongerayo mu ddwaliro lya Mukono General Hospital erya gavumenti […]

error: Content is protected !!