Omukubiriza w'olukiiko lw'essaza ly'e Kyaggwe, Jonathan Ntulume ng'ayogera.

Okufa Kwomukulu W’ekika Ky’e Kiwere – Bamwogeddeko Birungi Byereere

2 minutes, 32 seconds Read

Oluvannyuma lw’okumala ku nsi ennaku 12 okuva lwe yaseerera (okufa) nga September 12, 2024, Omutaka w’ekika ky’e Kiwere, James Luwonko Mbale Zamuwanga, enteekateeka z’okutereka enjole ye zitandikiddwako.

Enteekateeka zino zikulembeddwamu Katikkiro w’ekika Apollo Kyazze Mbale, ng’ono ategeezezza nti naye obukulu buno yakabumalako ennaku 12 zokka, ng’ekiraamo ky’omugenzi kye kyamuwadde ekitiibwa kino okusobola okutambuza ekika n’okukumaakuma bazzukulu be ab’eddira Ekiwere.

Katikkiro w’ekika Apollo Kyazze Mbale ng’ayogera.

Bazitandise n’okuggya enjole y’omubuze mu ddwaliro e Kawolo gy’ebadde ekuumirwa okumala ebbaku zino zonna z’amaze okuva lwe yaseerera n’etwalibwa ku kkanisa y’omutukuvu Gideon esangibwa mu Kigombya mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y’e Mukono.

Wano gibadde miranga na kwaziirana okuva eri abaana b’omugenzi n’ab’oluganda abalala olukubye amaaso ku njole y’omubuze nga ky’eggye eggyibwe mu ambulensi.

Rev. Mikka Lukwago ng’akulembeddemu okusabira Omutaka w’ekika ky’e Kiwere eyabuze.

Okusaba kukulembeddwa omusumba w’obusumbwa bw’e Ddandira, Rev. Mikka Lukwago Migavu ng’ayambibwako Rev. Fredrick Luswata asumba ekkanisa ya St. Gideon.

Okusaba kuno kwetabiddwako abantu ab’enjawulo okubadde omukubiriza w’olukiiko lw’essaza ly’e Kyaggwe, Janathan Ntulume ng’ono akiikiridde Ssekiboobo, Vincent Matovu Bintubizibu, eyali meeya w’ekibuga ky’e Mukono, George Fred Kagimu, akiikiridde omukulu w’ekika ky’e Ngeye Shiba Kasujja nga ye Ssaalongo Mulasa Kiweweesi.

Kitegeerekese ng’omubuze, James Mbale Zamuwanga aleze omubbulukuse ng’ono y’amuddidde mu bigere nga ye Alexandra Basajjabaka Luwunguko.

Rev. Mikka ng’abuulira alaze nti waliyo obulamu obw’obulamu obutaggwawo nti olw’okuba omubuze abadde amanyi ng’era aweereza Katonda, era waakuzuukirira wamu ne Katonda.

Ssenga w’abaana, ng’ayogera ng’ali n’abaana b’omubuze.

Ye Ntulume omukubiriza w’olukiiko lw’essaza alaze okutya ng’agamba nti ennaku zino abakulu b’ebika bafudde nnyo ng’agamba nti kino kyatandikira ku Ying. Daniel Bbosa Lwomwa ow’ekika ky’endiga eyakubibwa amasasi.

Ntulume asomye obubaka bwa Ssekiboobo Vincent Matovu ng’asiima emirimu gy’omugenzi omuli okukumaakuma bazzukulube n’okukola obuweereza obw’enjawulo mu Bwakabaka.

N’abantu abalala okuli n’abaana nabo boogedde okuli ne Katikkiro Apollo Kyazze ng’agamba nti wadde omugenzi abadde mukulu wa kika, ne mu kkanisa abadde akolamu obuweereza.

Agambye nti omugenzi agenda kuterekebwa mu kibira olunaku lw’enkya ku kyalo Kasiniina mu disitulikiti y’e Kiboga.

Abaana nga baganzika ekimuli ku ssanduuko y’omubuze.
Bamulekwa nga baganzika ekimuli ku ssanduuko y’omubuze.
Abakungubazi ng bakungaanye mu kusabira omubuze mu kkanisa e Mukono.
Bamulekwa nga bafukamidde boogera ku birungi kitaabwe by’akoze, ayimiridde ye ssenga waabwe.
Abamu ku bakungubazi.
Nnamwandu (ow’okubiri ku ddyo) mu kkanisa e Mukono mu kusabira omubuze.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!